P.
2 LUGANDA LESSON NOTES FOR TERM II
Nantabulirirwa yasobala gwa bbumba
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe :
Ekiwayi :
Ebigendererwa : Okusoma walifu y’oluganda
: Okuwandiika wqalifu y’oluganda
: Okuwandiika ebika by’enukuta ebbiri
: Okusoma enukuta emperezi
Obukodyo :
Ekinyusi : Ennukuta za walifu
Zino zennukuta zetusanga/ezikozesebwa mu lulimi oluganda.
a e i o u
w y c h ŋ
b p v f m
d t l r n
z s j g k
ny
Ennukuta zawalifu ziri bbiri
Ennukuta ensirifu/ kasiro
Ennukuta emperezi/ enjatuza/enjogeza
Enukuta ensirufu
Zino z’ennuta ezitzyogera nga ziri ziyitibwa kasiru oba enukuta ensirifu.
w y c h ŋ
b p v f m
d t l r n
z s j g k
Ennukuta empeerezi
Zino zenukuta ezogera era ezogeza ennukuta ensirifu ziri ennukuta taano.
a e i o u
1
omulimu
1. juzaamu ennyukuta ezibukamu.
a ____i o u
b___v f ____
z___ ___ g k
2. wandiika ennukuta enjogeza etaano.
_______ ______ _______ ______ _____
3. Wandiika ennukuta ensirifu taano
_______ ______ _____ _____ ______
Tunayita nga babiri ng’akulabyeko akawala akalungi
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Ennyingo
Ekiwayi : Ennukuta ezenyingo ebbiri.
Ebigendererwa :
Ensomesa :
Ekinyusi : Ennyingo ezennukuta bbiri.
Okufuna enyingo tugatta ennukuta emperezi
Kunyukuta ensirifu nga bwekiri wano wamanga
b+a =ba b+e= be b+i = bi b+o =bo b+u = bu
C+a= ca c+e = ce c+i =ci c+o =co c+u =cu
P+a =pa p+e =pe d+a= da d+e=de
V+a = va v+e =ve t+a =ta t+e =te
R+a=ra r+e=re k+a =ka k+e= ke
n+a=na n+e=na
Omulimu
Gatta ennukuta emperezi kunsirifu okole ennyingo
g +a = ______ m+e = __________ n + i = _________
2
z + o = ______ l + u = ___________ s + o = _________
f +e = _____ r +I = ___________
juzaamu ennyingo ezibulamu
ga ____ gi _____ _____
ba be _____ bo _____
ya _____ yi ______ ______
ka _____ ki _____ ku
ja _____ ______ joju
kyosimba onaanya ky’olyako ettooke
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Okuzimba ebigambo
Ekiwayi : Okuzimba ebigambo mu nnyingo ebbiri
Ebigendererwa : Okugatta ennyingo okufuna ebigambo
Okusoma ebigambo
o Okuwandiika ebigambo ebirimu ennyingo ez’ennukuta
essatu
Obukodyo :
Ekinyusi : Okuzimba ebigambo
Okusobola okukola ebigambo mululimi oluganda. Tugatta ennyingo ezenjawulo, nga bwolaba
wamanga
ba + be = babe ma + ta = mata ma +ka = maka
wa +we = wawe dda + lu = ddalu ku +ba = kuba
ma+tu = matu ka + fu = kafu se + ka = seka
ba +bi = babi li + ma = lima
3
Omulimu
1. Gatta ennyingo zino okole ebigambo
ki + bo = ________ ka + ti = _________
fu + ka = ________ mu + ti = _________
di + ba = ________ ka + lo = _________
2. Kutula mu bigambo bino
babo
mufu
muko
muto
sima
kate
4
Gwoyisa enkya akuyisa ggulo
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Ennyingo
Ekiwayi : Ennyingo ez’ennukuta essatu
Ebigendererwa : Okuwandiika nokusoma ennyingo ez’ennukuta ez’ennukuta
essatu
o Okuwandiika ebigambo ebirimu ennyingo ez’ennukuta
essatu
Ensomesa : Okunnyonyola
o Okukubaganya ebirowoozo
Ekinyusi :
Ennyingo z’enukuta essatu.
nta nte nti nto ntu
mba mbe mbi mbo mbu
nda nde ndi ndo ndu
nka nke nki nko nku
Ebigambo
enkima emboga embuzi endeku
embizzi embwa ensuwa
enkoko entula ente n’ebirala
Omulimu
1. Jjuzaamu ennyingo ezibulamu.
mba _____ mbi ___ mbu
2. Wandiika ebigambo ebirimu ennyingo ezennukuta essatu.
3. Wandiika emboozi ngokozesa ebigambo bino.
Enkima _________ensuwa ________ entula _______
5
Olugero: mwana mubi – avumaganya nyina
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Obutonde bwensi
Ekiwayi : Ensolo z’abulijjo
Ebigendererwa : Okumennya ensolo zonna
o Okuwa emigaso gy’ensolo
Ensomesa : Okunnyonyola
o Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi :
Ensolo z’awaka
embuzi enkoko kkapa
embwa embalaasi akamyu
engamiya embizzi
Ebintu byetufuna mu bisolo
- Ennyama
- Amaliba
- Amata
Ebisolo by’omunsiko
- Enjovu , entulege, engabi,
- Envubu, omusota, engo
- Ekibe, omusu, enkima
Emigaso
Ensolo z’awaka zituwa amata, ennyama nebirala
Zituwa amaliba
Zitutambuza nokwettika emigugu gyaffe
Embwa ekuuma awaka
Kkapa erya emmese
6
Omulimu
1. Saza kunsolo ezisangibwa mu nsiko.
enkoko omusota akamyu
enjovu embwa engabi
2. Wandiika ensolo ezituwa enyama ssatu.
3. Nsolo ki ezitutambuza?
4. Nsolo ki ekuuma ewaka?
5. Kuba ensolo szino
enjovu empologoma entulege ente kkapa
Konoweeka tokalinda kusaaba ttaka
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Obutonde bwensi
Ekiwayi : Ebinyonyi
Ebigendererwa : Okumenya amannya gebinyonyi ebyawaka
o Okunyonyola emigaso gy’ebinyonyi ebyawaka
Ensomesa : Okunnyonyola
o Okubuuza nokuddamu
Ekinyusi : Ebinyonyi
Ebinyonyi by’awaka
enkoko ssekkoko enkusu
enkofu enjiibwa embaata
Ebinyonyi by’omunsiko
kamunye, ejjuba, enkwale, ȠȠaali, endegeya, ennyange, empungu,
7
Emigaso gy’ebinyonji ebyawaka.
Ebinyonyi bituwa amagi, enyama n’e byoya
Ebyoya tubitimbisa
Omulimu
1. Kuba ebinyonyi bino
enkoko ssekkoko
2. Saza ku binyonyi byawaka
kamunye, embaata, sekanolya
3. Wandiika ebintu bisatu byetufuna mubinyonyi ebyawaka.
_____________ _____________ _____________
4. Kinonyi ki ekibeera ku bbendera ya Uganda?
5. Kinyonyi ki ekituliira enkoko?
6. Wandiika ebinyonyi by’omusiko bisatu
Kayemba nantabuliririrwa yasabala gwabumba
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Emboozi obutonde bwensi
Ekiwayi : Ebinyonyi
Ebigendererwa : Omuyizi ajja
Ensomesa : Kusoma emboozi n’okuddamu ebibuuzo
Ekinyusi : Soma emboozi noluvanyuma oddemu ebibuuzo
OKULUNDA
Amanya gange nze Kalule John.
Awaka waffe tulunda ebisolo n’e binyonyi eby’enjawulo
Tulina ebinyonyi nga enkoko,ssekkoko, embaata, ne’nkofu.
8
Tulunda n’ebisolo ebyenjawulo nga embuzi, ente wamu n’endiga.Ebisolo bino tubitunda
n’etufunamu sente ezituyamba okusasula ebisale by’esomero n’etusobola okusoma. Bigulibwa
abantu ab’enjawulo nga abooki be nkoko n’abatemi b’ennyama
1. Bisolo ki ebirundwa awaaka?
2. Ani anyumya emboozi?
3. Wandiika ebinyonyi bisatu ebilundwa awaakawaba Kalule.
4. Wandiika omutwe gw’emboozi eno.
Siyimbe mwana natooke ngalina kyanalya
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Obutonde bwensi
Ekiwayi : Ebiwuka ebyabulijjo
Ebigendererwa : Okumenya n’okuwandiika amannya g’ebiwuka eby’a bulijjo.
o Okukuba ebifaananyi
Ensomesa : Okunnyonyola
o Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi :
Amannya g’ebiwuka ebyabulijjo
ensiri ebiku ensowera
ebiyenje ejjanzi enswa
enjuki ensenene nabbubi
ekiwojjolo ennumba ensekere
enkukunyi
9
Emboozi
Enjuki zituwa omubisi
Enswa n’enseenene tubirya
Ebiwuka ebimu byabulabe okugeza
Ensiri Ebiyenje Ensolosozi Enjuki N’ensowera
Omulimu
1. Wandiika ebiwuka bibiri byetulya
enswa ensenene
2. Kiwuka ki ekituwa omubisi?
3. Wandiika ebiwuka bitaano ebyobulabe eri omuntu.
Basajja mivule gibwatula negigumiza
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Obutonde bwensi
Ekiwayi : Ebiwuka ebyabulijjo
Ebigendererwa : Okumenya obulabe ebiwuka byebuleeta eri omuntu
Ensomesa : Kunnyonyola
: Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi :
Ebiwuka nobulwadde bwe bireeta.
Ensiri – ereeta omusujja
Ekiyenje – kireeta omusujja gwebyenda n’okuddukana
Ekivu- kireeta mongoota
Ensowera – ereeta ekiddukano kyomusaayi
Obuloolo- buleeta obuwere.
10
Omulimu
Koloboza ebiwuka kubulwadde bwebireta
Ensiri obuwere
Ekiyenje Mongoota
Ekivu omusujja
Obuloolo ekiddukano ky’omusaayi
Kikonyogo bakikasukira kularira n’rkidda nabirimba
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Obutonde bwensi
Ekiwayi : Ebimera ebyabulijjo
Ebigendererwa : Okumenya nokuwandiika amannya g’ebimera
: Okukuba ebifaananyi
Ensomesa : Okunnyonyola
: Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi : Ebimera by’ebintu ebikula okuva muttaka.
Amannya g’ebimera
ebijanjaalo kasooli obulo omuwemba omuceere
muwogo lumonde bikajjo amappaapaali
emiyembe emiti omuddo ebitooke
Emigaso gy’ebimera
Bituwa emmere
Bituwa eddagala
Bituwa embaawo
Bituwa ebibala
Omulimu
1. Kuba ebimera bino
kasooli muwogo ebitooke
2. Tuuma amannya
_____________________ ___________________
11
Mpolampola ayiisa obusera
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Obutonde bwensi
Ekiwayi : Ebimera ebyabulijjo
Ebigendererwa : Okumennya emigaso gy’ebimera
: Okumenya amannya gebintu byetufunamu ebimera
Ensomesa : Okunnyonyola
: Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi :
Emigaso gy’ebimera
Ebimera bituwa :-
ebibala enku tuzifumbisa
enkondo emmere
eddagala tubitunda netufuna sente
embaawo essubi
Omulimu
Bituume amannya
________________________
__________________________
__________________________
12
Tuuma ebitundu byekimera
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Byetukola
Ekiwayi : Emiwendo
Emu bbiri nnya musanvu kkumi
1 2 4 7 10
Kkumi namukaaga abiri ssatu assatu
16 20 3 30
Omulimu
1. Wandiika emiwendo mu bigambo.
2 ___________ 30 ____________ 20 _____________ 3 ______________
10 __________ 6 _____________ 7 _______________
2. Bala owandiike emiwendo.
Ebikopo biri _____________________
Ennyumba eri __________________________
Emipiira giri _______________________
Abawala bali __________________
13
3. Koloboza emiwendo ku bigambo
16 abiri
20 munaana
8 ssatu
3 kkumi n’amukaaga
End of theme test
1. Wuliriza owandiike
2. Wandiika ennyingo ttaano
3. Saza ku bigambo ebiwangaala.
Omukeeka omuwala ekikoola omukebe
4. Jjuzaamu ennyingo ezibulamu
Mpa _____ mpi ____ mpu
Gga ____ _____ ggo ____
Saa ____ sii _____ suu
______ ke ____ ko ____
5. Jjuzaamu ennyukuta ezibulamu walifu
a ____ i o ____
w ____ ____ h Ƞ
b ___ v ____ m
d ___ l ___ n
____ s j ____ k
6. Menya ebisolo bisatu ebirundibwa awaka
7. Wandiika ebigambo
bo ku nnyingo zino
Se ______ ma __________ nte _________
_____ __________ __________
8. Kuba ebimera bino
Ekittooke muwogo ennanansi
9. Tuuma ebitundu byekimera
Enduli, ekimuili, ekibala, emirandira,
mirandira, ekikoola
14
Mwana Mugimu ava kungozi
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Ebintu byetukola
Ekiwayi : Ebintu byetukola mukitundu kyaffe
Ebigendererwa : Okumenya nokusoma ebintu byetukola nengalo
: Okuwandiika emboozi ku bintu byetukola
Ensomesa : Okunnyonyola
: Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi :
Ebintu byetukola n’engalo zaffe.
ddole emiguwa emipiira ensuwa
emikeeke ebibbo emmeeza olweyo
ebitambala ebiwempe omulawo
Emisekuzo ebimu ebikapu ebisero
Ebiganbo mu bumu ne mubungi
ekibbo - ebibbo
ekikapu - ebikapu
omukeeka - emikeeka
omupiira - emipiira
ensuwa - ensuwa
emmeeza - emmeeza
15
Omulimu
1. Wandiika emboozi ngokozesa ebigambo bino
Omupiira ____________
Omuguwa _____________
Omukeeka ____________
2. Kuba ebintu bino
Ekibbo omukeeka ddole ensuwa
______ ________ ________ _______
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Ebintu byetukola
Ekiwayi : Langi
Soma langi zino
Kimyufu kiragala enziddugavu kyenvu kyeru kasaayi kitaka
Kyenvu kiragala
k
kimyufu kiddugavu
kitaka
omulimu
Siiga langi zabyo
Kiragala kyenvu
16
Koloboza langi zino
Red kitaka
Green kyenvu
Black kimyufu
Yellow kiddugavu
Brown kiragala
Ezivaamu omukulu zangaala
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Ebintu byetukola
Ekiwayi : Ebikozesebwa
Ebigendererwa : Okumenya nokuwandiika ebikozesebwa
: Okukola eby’emikono
Ensomesa : Okunnyonyola
: Okukubaganya ebirowoozo
Ekinyusi :
Ebintu by’etukozesa okukola ebyemikono
ensansa ebitoogo ebbumba wuzi ebyayi
essanja embaawo obukeedo enjulu emiti
Omulimu
Juuzaamu ekigambo ekituufu
1. __________________libumba ensuwa (ensansa, ebbumba)
2. Ekiwempe tukikolamu ___________(bbumba, bitoogo)
3. ______________tubilukisa omuguwa (enjulu, ebyayi)
17
4. Koloboza ku kituufu
Ensansa
Ebbumba
Ebyayi
Obukeedo
Embaawo
Ekinakulya ako amenvu kigya okususa
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Ebintu byetukola
Ekiwayi : Ebintu byetukozesa awaka
Ebigendererwa : Abayizi bajja kumenya ebintu byetukozesa awaka
: Okubiwandiika
Ensomesa : Okubuuza n’okuddamu
: Okukubaganya ebirowoozo
Ekinyusi :
Ebintu byetukozesa awaka
ekitanda essuuka ebikopo ebibbo
entebe emmeeza ensuwa akambe
essowaani ssepiki omukeeka ejjambiya
ebiddomola ekinu omusekuzo embazzi n’ebirala
Omulimu
18
1. Tuuma bino amannya
______________________________
_______________________________
_______________________________
________________________________
2. Kozesa bino mu mboozi
Emmeeza ____________________
Ekikopo _____________________
Nsuwa____________________
End of theme test
1. Wandiika amannya gemiwendo gino
2 _________ 4 ________ 6 __________ 10 _________ 3 ________
2. Wnadiika bino mu bungi
omupiira _____________
omukeeka _____________
ekibbo __________________
ekikapu ________________
ensuwa ______________
3. Kozesa ku, mu, wandi oba waggulu omalirize
Ensuwa eri _______ mmeeza.
Kkapa eri ________ wakatebe.
19
Amazzi gali _______ kikopo
4. Kolaboza ku langi entuufu
black kiragala
yellow kiddugavu
red kyenvu
green myufu
5. Wandiika emboozi ku bigambo bino
ayera __________________
atema _____________________
afumba ___________________
Mukadde wamuno tayomba ng’obuziin
ng’obuziinabwe
bwe bwabulese bwabusanze
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Entambula mukitundu kyaffe
Bikozesebwa muntambula
Ekiwayi : Abintu ebitambuza
Ebigendererwa : Okumennya ebintu ebitutambuza
: Okwawula ebintu ebitambulira ku luguudo, ku mazzi ne
mubbanga.
Ensomesa : Okunnyonyola
: Okubuuza n’okuddama
Ekinyusi : Ebika byentambula
Ey’okumazzi
Ey’okuluguudo
Ey’omubbanga
Ey’okuluuma
20
Ebitutambuza ku luguudo
- Emmotoka loole bbaasi ppkikipiki endogoyi
- Embalaasi eȠȠamiya
Ebitatambuza ku mazzi
Eryato ekidyeri emmeeri
Ebitutambuza mu bbanga
Ennyonyi
Ebitutambuza ku luuma
- Eggaali y’omukka
Omulimu
1. Wandiika ebintu ebitutambuza ku luggudo bitaano.
2. Wandiika entambula ssatu ezoku mazzi saatu .
3. Nsoloki ezitambuza n’okwetikka emigugu?
4. Kuba ebintu bino ebitutambuza ku nguudo.
Bbaasi ________________ eggaali ________________
Loole ________________ emmotoka _____________
Eryaato lyenkasi _____________ emmeeri _______________
Omuze gufiira kumugumba
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Entambula mukitundu kyaffe.
Ekiwayi : Ebintu ebitutambuza
Ebigendererwa : Okusoma olugero n’okuddamu ebibuuzo
Ensomesa : Okuwuliriza nokwogera
: Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi : Soma emboozi eno oddemu ebibuuzo.
21
ENTAMBULA
Entambula munsi nnungi, yamugaso. Tuva mukifo ekimu okutuuka awalalangatukozesa
ngatukozesa
entambula ez’enjawulo.. Bwemba nva kussomero, ntambulira mu bbaasi oba ppikipiki.
Abasomoka ennyanja batambulira mu bidyeeri
bidyeeri, emmeeri oba eryato.Abagenda
Abagenda ebweru
eb balinnya
ennyonyi.Abantu abalala batambulira mu ggaali y’omukka.
y’omukka.Ebisolo ng’eŋŋamiya,
ŋŋamiya, embalaasi,
n’endogoyi nabyo bitutambuza.
Nze Kirunda Samuel
Omulimu.
1. Kiki ekirungi munsi?
2. Bwoba oddayo eka otambulira muki?
3. Abasomoka ennyanja batambulira muki?
4. Abagenda ebweru balinya ki?
5. Kuba elyato nga liseeyeeya ku nnyanja
End of theme test
1. Wandiika ebigambo ebiwangaala
2. Bala owandiike amannya gemiwendo
Ebikopo biri
Olweyo luli
Amagi gali
3. Wandiika ebisolo ebitutambuza bisatu
4. Soma okube bino ebitutambuza
Eggaali yomukka loole ennyonyi
5. Tereeza emboozi zino
emmotoka avuga Taata
omuddo erya Ente.
eryato atudde mu Kato.
22
Omuzadde waliira ng’omugumba yesitukidde dda
Olunaku Obudde Ekibiina Abayizi
Omutwe : Okwekuuma obubenje
Ekiwayi : Obubenje
Ebigendererwa : Okumenya obubenje obusobola okutuuka ku bantu.
Ensomesa : Okunnyonyola
: Okubuuza n’okuddamu
Ekinyusi :
Obubenje
Emmotoka okutomera embwa okukuluma
Okuva ku mu muti n’ogwa omusota okukuboja
okujja enjuki okukuluma
okwesala omuliro okukwokya
Ebintu ebireeta obubenje
omuliro omusota emmotoka ejjirita amayinja omusumaali
akambe eccupa enjatifu embwa enjuki ejjambiya
Omulimu
Maliriza n’ekigambo ekituufu
1. Omuliro ______________________
2. Akambe _______________________
3. Omusumaali _______________________
4. Enjuki ______________________________
(ziruma, gwokya, kasala, gufumita)
Kuba bino ebireeta obubenje.
omusumaali omuliro amayinja eccupa
Njama ntono okayana eri munkwawa
23
End of theme test
1. Jjuzaamu ennyingo ezibulamu
O ___sota omu _____maali ejjiri ____
2. Kuba bino ebireeta obubenje
Omuliro
Eccupa eyattise
Amayinja
3. Wandiika ebigambo ebikontana
Omuwala
Munene
Mukadde
Muwanvu
Musajja
4. Wandiika ennyukuta emperezi ttano
5. Menya abantu babiri betusanga awaka
24