0% found this document useful (0 votes)
246 views94 pages

Enkuluuze Ya Kwalya

Uploaded by

mulabbi brian
Copyright
© © All Rights Reserved
We take content rights seriously. If you suspect this is your content, claim it here.
Available Formats
Download as PDF, TXT or read online on Scribd
0% found this document useful (0 votes)
246 views94 pages

Enkuluuze Ya Kwalya

Uploaded by

mulabbi brian
Copyright
© © All Rights Reserved
We take content rights seriously. If you suspect this is your content, claim it here.
Available Formats
Download as PDF, TXT or read online on Scribd
You are on page 1/ 94

ENKULUZE Y’EBYOBUWANGWA BW’ABAGANDA

EYEESIGAMIZIDDWA KU BITEGEERO

OMUNOONYEREZA
KAWALYA DEO
00/U/906

OMULIMU GW’OKUNOONYEREZA OLW’OKUJJUULIRIZA


EBISAANYIZO BY’OKUMALIRIZA DIGULI YA
BACHELOR OF ARTS MU MASOMO
G’OLUGANDA N’EBY’ENNIMI MU
MAKERERE UNIVERSITY

OMULUNGAMYA
Dr. K.B KIINGI

2002/2003
OKUKAKASA

Nze Deo Kawalya, nkakasa nti omulimu oguvudde mu kunoonyereza kuno

teguweebwangayo mu ttendekero lyonna ku lw’okufuna Diguli yonna. Noolwekyo

omulimu guno muggya.

…………………………………..

Deo Kawalya

OMUNOONYEREZA

…………………………………..

Dr. K.B Kiingi

OMULUNGAMYA

i
OKUWONGA
Eri omwagalwa maama Norah Namata. Ky’okoze kirowoozebwa bulowoozebwa, so

tekikkirizika eri abasinga obungi. Yongera okubeerawo nga eky’okulabirako.

ii
OKWEBAZA

We ntuusirizza omulimu guno ku ddaala lino, Ngenze okulaba nga tekiyinza

kwewalika okwebaza abantu bano wammanga olwa byonna bye bankolera

obutereevu oba mu ngeri endala okulaba nga gutuuka wano.

Neebaza nnyo maama Norah Namata olw’okwerekereza byonna ebirungi n’asobola

okumpa buli kamu ke mba mmusabye. Kuno ngattako abantu abalala bonna

abandaze omutima ogw’ekizadde mu kusoma kwange nga Mw. Kimera Mugalula

simwerabidde.

Bayizi bannange bonna be nkolaganye nabo mu myaka esatu egy’okusoma kwange

mbeebazizza nnyo. Siyinza kwetantala kumenya linnya na limu kubanga siyinza

kubamalayo, so ng’amazzi amatono gabooza ente.

Sirema kutuusa kusiima kwange eri omulungamya wange Dr. K.B. Kiingi,

yannyamba nnyo n’okunzikiriza okukozesa ebitabo bye buli we nnayagaliranga.

Abasomesa bange bonna abannungamizza mu kkubo eggolokofu siyinza

kubeerabira. Omutima omulungi gwe mundaze wamu ne bayizi bannange

gubumbujje bubumbuzzi, awatali kusalako, n’abo abanaddawo bafune omukisa

okugulegako.

iii
EBIRIMU

Okukakasa…………………………………………………………………………….i

Okuwonga…………………………………………………………………………….ii

Okwebaza……………………………………………………………………………iii

ESSUULA ESOOKA

1.0 Ennyanjula n’ebyafaayo………………………………………………………….1

1.1 Okwasanguza ekizibu…………………………………………………………….6

1.2 Obugazi bw’omulimu…………………………………………………………….6

1.3 Ebigendererwa by’omulimu……………………………………………………...8

1.4 Ebyateeberezebwa………………………………………………………………..8

1.5 Obukulu bw’omulimu…………………………………………………………….9

1.6 Ebigambo ebyakozesebwa………………………………………………………..9

ESSUULA EYOOKUBIRI

2.0 Okwekenneenya ebiwandiiko…………………………………………………...11

2.1 Obukodyo n’empenda…………………………………………………………...19

ESSUULA EYOOKUSATU

3.0 Okugezesa ebyateeberezebwa…………………………………………………..21

3.1 Ennyanjula………………………………………………………………………21

3.2.0 Enneeyambisa y’enkuluze……………………………………………….……21

3.2.1 Ensengeka n’ennamba ………………………………………………………..21

3.3.0 Okuzuula ebigambo n’amakulu gaabyo………………………………………22

3.3.1 Oweyambisa ebirimba………………………………………………………...22

iv
3.3.2 Okweyambisa enkookero y’ekiwalifu………………………………………...22

3.4 Ebigambo ebigwa mu birimba ebingi…………………………………………...23

3.5 Ebigambo ebigatte………………………………………………………………23

3.6 Ebifunze ebyeyambisibwa………………………………………………………23

KLA Abalongo……………………………………………………………………...25

LLB Obubazzi………………………………………………………………………31

LLC Obubumbi……………………………………………………………………...39

WBD Obudde……………………………………………………………………….42

LME Obuvubi……………………………………………………………………….45

LLF Obuweesi………………………………………………………………………47

LLG Obuyizzi……………………………………………………………………….50

WLH Okubala……………………………………………………………………….54

KLI Okutabaala……………………………………………………………………..57

KLJ Olumbe…………………………………………………………………………61

Olukalala lw’ekiwalifu……………………………………………………………...69

ESSUULA EYOOKUNA

4.0 Okuwumbawumba………………………………………………………………83

4.1 Okuwa amagezi…………………………………………………………………83

4.2 Ekizibu ekiggya…………………………………………………………………85

Ebitabo ebyakozesebwa……………………………………………………………..86

v
1.0 ENNYANJULA N’EBYAFAAYO

Olulimi gwe muyungiro gw’obubonero obuteebereze ekibinja ky’ebiramu bwe

kyeyambisa okutegeeragana. Olulimi lwonna bwe lubeera lwekenneenyezebwa,

lutunuulirwa ku mitendera egiwerako; ogw’enjatula, kazimbabigambo,

kazimbamboozi, kannamakulu, kalojjankuluze n’emirala. Ennimi ezaatandika edda

okuwandiikibwa n’okunoonyerezebwako nga Olulattini, Olufalansa, Olugirimaani,

Olugereeki, Olungereza n’endala zigenze zeekebejjebwa n’okuwandiikibwako

kyenkana ku mitendera gy’olulimi gyonna oba egisinga obungi ku gyo. Kaweefube

ono akolebwa abantu aboogezi b’ennimi ezo oba bannannimi abalala abayinza okuba

nga si boogezi ba nnimi ezo.

Kyokka newankubadde guli bwe gutyo, mu mitendera gy’ennimi egyo mulimu

egigenze gifiibwako ennyo okusinga ku mirala. Emitendera nga ogw’okwatula,

kazimbabigambo ne kazimbamboozi girabika nga giwandiikiddwako era

gikyawandiikibwako nnyo okusinga ku mirala. Mu egyo egirabika nga

tegifiiriddwako nnyo, mwe muli omutendera gwa kalojjankuluze.

Kalojjankuluze gwe mutendera gw’olulimi ogufa ku kuwandiika enkuluze.

Ekigambo enkuluze kizze kitegeerwa mu ngeri za njawulo eri abantu ab’enjawulo.

Abasinga obungi bakitegeera nga ekitabo ekiwa enkalala z’ebigambo

ebisengekeddwa ekiwalifu, ne kinnyonnyola amakulu gaabyo.

1
Enkuluze za bika ebiwerako. Ebika byazo bisinziira ku lupimo lwa bintu nga

musanvu oba okusingawo. Bisinziira ku muwendo gwe’nnimi; muno nga mulimu

ez’olulimi olumu, ez’ennimi ebbiri (nnannimibbirye) n’okusingawo. Bisinziira ku

mukozesa; obukulu bwe, olulimi lwe oluzaaliranwa. Zisinziira ku nsengeka

y’ebigambo; eyinza okuba ey’ekiwalifu oba eyeesigamiziddwa ku bitegeero.

Zisinziira ku bunene bwayo n’ebirala.

Ebyafaayo biraga nti enkuluze ezaasooka okuwandiikibwa zaabanga

nnannimibbirye. Enkuluze zino era zaabangamu nkalala za bigambo nga ziwa ne kye

bitegeeza mu nnimi endala.

Landau (1989 : 37) akkaatiriza ensonga eno bw’agamba nti:

“The earliest word reference books for English speaking people were

bilingual glossaries that provided English equivalents for Latin or French

words.”

ekivvuunulwa nti:

“Enkuluze z’aboogezi b’Olungereza ezaasooka byali bitabo bya nkalala za

bigambo bya Lulattini oba Olufalansa nga biweereddwako eby’Olungereza

ebikongojja amakulu gaabyo.”

2
Ekimu ku bitabo by’enkalala bino Landau ky’awa kiyitibwa Latin-English

Dictionary. Kyawandiikibwa Thomas Thomas, ne kifulumizibwa aba “Dictionarium

Linguae Latinae et Anglicance” mu 1588. Eno y’emu ku nkuluze ezaasookera ddala

okufulumizibawa mu nsi yonna.

Enkuluze y’Olungereza (ey’olulimi olumu) eyasooka okufulumizibwa eyitibwa A

Table Alphabeticall mu 1604. Yawandiikibwa Robert Cowdrey. Enkuluze endala

nnyingi zizze ziwandiikibwa. Wabula abawandiisi baazo abaggya bagenda

beeyambisa ezo eziba zaawandiikibwa edda nga bongeramu oba okutoolako ne

bafunamu empya. Wabula enkuluze ezisinze okujjumbirwa zirabika nga z’ezo

ezisengekeddwa ekiwalifu, nga Oxford English Dictionary, Longman Dictionary

Of Contemporary English, Cambridge International Dictionary of English

n’endala.

Weewaawo nga guli bwe gutyo, waliwo abagezezzaako okuwandiika enkuluze

ezaawukana ku nkola eyo, ne bawandiika enkuluze ezeesigamiziddwa ku bitegeero

oba ku bibinja by’enfaananyamakulu. Mu bano mulimu okugeza McArthur (1982)

eyawandiika Longman Lexicon of Contemporary English, Comenius (1631)

eyawandiika Janua Linguarum Roserata ne Roget (1852) eyawandiika Roget’s

Thesaurus.

Ebyafaayo bya kalojjankuluze mu nsi yonna birabika nga byekuubiira ku nnimi

nnondemu nga Olungereza, Olufalansa, Olugereeki n’Olugirimaani. Bwe tutunuulira

3
ennimi z’Abaddugavu nga n’Oluganda mw’olutwalidde, ebyafaayo biraga nga mu

nnimi zino enkuluze zitandise kuwandiikibwa jjuuzi luno jjolyabalamu ku ntandikwa

y’ekyasa eky’amakumi abiri. Mu kiseera kino kaweefube we yatandikira ne mu

lulimi Oluganda ne mutandika okuwandiikirwamu enkuluze. Wabula nga bwe kyali

ne nnimi endala, ne mu Luganda enkuluze ezaasooka okuwandiikibwa zaali

nnannimibbirye ate era nga zisengekeddwa kiwalifu. Mu butuufu tewannabaawo

nkuluze yaafulumiziddwa nga ya lulimi lumu, okuggyako ezo ezikyali mu mabago.

Enkuluze eyeesigamiziddwa ku bitegeero yo erabika nga ebadde tennabaawo ne mu

bubage.

Ekyewuunyisa kwe kulaba ng’abantu abaatandika kaweefube ono tebaali Baganda

wabula abo abaava ebunaayira. Enkuluze ze baawandiika noolwekyo zisinga

kuyamba Bantu aboogera ennimi zaabwe nga bayiga Oluganda. Mu bano mulimu:

Le Veux (1917) eyawandiika Premier essai de Vocabulaire Luganda-Francais. Eno

eri mu nnimi Oluganda n’Olufalansa. Kitching ne Blackledge (1952) baawandiika

A Luganda-English and English-Luganda Dictionary. Snoxall (1967) eyawandiika

Luganda-English Dictionary n’abalala.

Mu nsangi zino waliwo kaweefube atandise okwenyigirwamu aboogezi b’olulimi

Oluganda mu kuwandiika enkuluze. Ekibiina ky’Olulimi Oluganda kiri mu

kaweefube ow’okufulumya ebbago ly’enkuluze ey’ekiruubirirwa eky’awamu

4
(general purpose). Enkuluze eno ewandiikibwa bannakibiina ekyo nga beegattidde

wamu.

Mu ngeri y’emu, waliwo enkuluze endala ey’ekiruubirirwa eky’awamu

ewandiikibwa mu kitongole ky’eby’ennimi mu Makerere University. Enkuluze zino

zombi za lulimi lumu (Luganda) era nga zirabika ze zinaaba zisookedde ddala

okuwandiikibwa mu lulimi Oluganda ez’engeri eyo.

Ekigambo ebyobuwangwa nakyo kitegeerwa mu ngeri za njawulo eri abantu

ab’enjawulo. Mitchell (1979:45) annyonnyola ebyobuwangwa mu ntegeera erabika

nga yeey’awamu egattagatta entegeera endala zonna. Agamba nti:

“Culture, in its broadest definition, refers to that part of the total

repertoire of human action (and its products), which is socially as to

genetically transmitted”

ekivvuunulwa nti:

“Ebyobuwangwa, mu nnyinyonnyola yaakyo ey’awamu, kitegeeza

ettunduttundu ly’omugatte gw’ebintu omuntu by’amanyi era by’asobola

okukola (n’ebibivaamu), by’atazaalibwa nabyo wabula ng’abiyigira mu

nkolagana ye n’ebimwetoolodde”

5
Ebyobuwangwa byawulwamu abibinja ebikulu bisatu. Ekisooka

ky’eky’ebyobuwangwa ebirabwako (material culture); muno mwe muli ebintu nga

obubumbi, obukomazi, obuweesi n’ebirala. Ebyobuwangwa nnankolagana (social

culture); muno mulimu ebintu nga entabaalo, emikolo n’ebirala. Ekyokusatu

ky’eky’ebyobuwangwa nnabirowoozo (ideational culture) nga muno mwe muli

ebintu ebikwatagana n’obwongo nga okugera obudde n’okubala.

1.1 OKWASANGUZA EKIZIBU

Mu lulimi Oluganda temunnawandiikibwamu nkuluze ya kiruubirirwa kya njawulo,

wadde eyeesigamiziddwa ku bitegeero, so ng’enkuluze ez’engeri eno

ziwandiikiddwa mu nnimi endala nga Olungereza n’Olugirimaani.

Okunoonyereza kuno noolwekyo kwakolebwa okuzuula oba ng’enkuluze

eyeekiruubirirwa ekimu (ebyobuwangwa), nga yeesigamiziddwa ku bitegeero

esoboka mu lulimi Oluganda nga bwe kiri ne mu nnimi endala.

1.2 OBUGAZI BW’OMULIMU

Ekigendererwa ky’omulimu guno tekyali kya kumalayo lulimi lwonna.

Omunoonyereza yatunuulira byabuwangwa bya Baganda byokka. Wabula ne mu

byobuwangwa yalondayo ebyakiikirira ebirala mu buli kibinja kya byabuwangwa.

6
Omunoonyereza yalondoola ebirimba kkumi. Mu kibinja ky’ebyobuwangwa

ebirabwako, yalondayo ebirimba bitaano; obubumbi, obuvubi, obuyizzi, obuweesi

n’obubazzi. Mu byobuwangwa nnankolagana, yalondayo ebirimba bisatu; abalongo,

olumbe n’okutabaala. Mu byobuwangwa nnabirowoozo yo yalondayo ebirimba

bibiri; obudde n’okubala. Ennonda eno yasinziira ku bugazi bwa buli kibinja kya

byabuwangwa n’obudde omunoonyereza bwe yalina okukoleramu omulimu guno.

Mu buli kirimba omunoonyereza yafuniramu ebigambo byamu ebyobuwangwa era

n’abisengeka ng’abigobereganya okusinziira ku muyungiro gwabyo

ogw’ekinnamakulu. Yannyonnyola amakulu gaabyo, wabula ng’amakulu ga buli

kigambo gannyonnyolwa okusinziira ku bigambo binnaakyo bye kiddiriŋŋana nabyo

mu lweyongerero (continuum) olumu.

Omunoonyereza teyafa ku buli kigambo ekiyinza okusangibwa mu lweyongerero

(continuum), wabula yafa ku ebyo ebirabika nga bya buwangwa ddala, era nga

bikuuma bulungi olweyongerero. Weewaawo waliwo ebigambo ebitali

byabuwangwa ddala, naye nga bwe birekebwa ebweru, omuyungiro gulabika okufa.

Omunoonyereza ebigambo bino yabifaako wabula ng’abigyisa bugyisa mu

muyungiro, so teyabinnyonnyola wadde okubiramba.

Mu kufuna ebigambo, omunoonyereza yeeyambisa nnyo ebyo ebyakozesebwanga

edda (eby’ennono) kubanga yakizuula ng’eby’ensangi zino ebisinga obungi si

7
byabuwangwa kwenkana biri. Ku ntandikwa y’ebirimba ebimu omunoonyereza

yagenda alambikawo obwekkaanyo obutonotono obulaga obugazi bwe yakomako

mu kirimba ekyo.

1.3 EBIGENDERERWA BY’OMULIMU

Mu mulimu guno omunoonyereza yalina ebigendererwa bino wammanga:

(i) Okuzuula n’okugabanya ebyobuwangwa by’Abaganda mu bibinja

byabyo ebikulu.

(ii) Okuzuula enneeyongerero (continua) eziyinza okuba mu buli kibinja

kya byabuwangwa. Okufuna n’okugabanya ebigambo ebigwa mu buli

lweyongerero era n’okubisengeka nga bwe birina okuddiriŋŋana.

(iii) Okunnyonnyola amakulu ga buli kigambo ekisangibwa mu buli

lweyongerero nga geesigamizibwa ku bigambo ebikyetoolodde mu

lweyongerero olwo.

1.4 EBYATEEBEREZEBWA

Mu mulimu guno kyateeberezebwa nti, olw’okubanga enkuluze ey’ekiruubirirwa

eky’enjawulo nga yeesigamiziddwa ku bitegeero esoboka mu nnimi endala, ne mu

lulimi Oluganda esoboka.

Era omunoonyereza yateebereza nti, amakulu g’ekigambo gannyonnyolwa era ne

gategeerwa mangu bwe kiba nga kinnyonnyoleddwa mu nziringana yaakyo

8
n’ebigambo ebirala bwe bisangibwa mu lweyongerero olumu, okusinga bwe kiba

nga kisangiddwa kyokka olw’ensengeka y’ekiwalifu.

1.5 OBUKULU BW’OMULIMU

Aboogezi b’Oluganda nga olulimi lwabwe olusooka oba olwokubiri ko n’abaluyiga

obuyizi bajja kwanguyirwa okufuna amakulu g’ebigambo, kubanga ekigambo kijja

kusangibwa ne binnaakyo bwe biddiringana mu lweyongerero olumu.

Omulimu gujja kuyamba nnyo abanoonyereza ku nnimi nnamagalo (dialects)

ez’Oluganda. Buli kirimba ekyafiibwako kijjudde olulimi olukozesebwa mu kisaawe

ekyo.

Omulimu gujja kuyamba abawandiisi mu kuwandiika ebika by’enkuluze ebirala

ebibadde tebinnafiibwako mu Luganda ne mu nnimi endala, era n’okujjuuliriza ezo

ezaawandiikibwa edda, kubanga omunoonyereza yazuula ebigambo bingi

ebitaafiibwako mu nkuluze ezo.

1.6.0 OKUNNYONNYOLA EBIGAMBO EBYAKOZESEBWA

enfaananyamakulu: ekigambo ekirina amakulu agafaanana oba ageekuusa ku

g’ekigambo ekirala. Kino tekitegeeza nti kisobola okweyambisibwa buli wamu kiri

we kikozeserezebwa.

omuyungiro: omugatte gw’ebintu ebikolera (ebigendera) awamu nga ekirimba.

9
ekitegeero: amakulu oba entegeera eba yeerimbise mu kintu oba ekigambo.

olweyongerero: omuyungiro ogulimu ebigambo ebiddiringana okuva ekintu we

kitandikira, ne kigenda mu maaso okutuuka nga kiwedde, okugeza; obuto,

obuvubuka, obukadde,okufa.

ekitobeko: ekigambo ekifaanagana n’ekirala naye nga byaawukanamu katono mu

mpandiika ne/oba enjatula.

enkuluze ey’ekiruubirirwa eky’awamu: enkuluze efa ku lulimi lwonna nga

tenokolayo kisaawe kimu.

enkuluze ey’ekiruubirirwa eky’enjawulo: enkuluze ekwata ku kintu (kisaawe)

ekimu, nga; obuwangwa, obusuubuzi oluyaaye n’ebirala.

nnannimibbirye: enkuluze ey’ennimi ebbiri. Ebigambo ebinnyonnyolwa biba

biweebwa mu lulimi olumu ate nga binnyonnyolerwa mu lulala.

10
2.0 OKWEKENNEENYA EBIWANDIIKO EBYEKUUSA KU MULIMU

Enkuluze nnyingi ezizze ziwandiikibwa okuviira ddala eyo mu makkati g’ekyasa

eky’ekkumi n’omukaaga. Weewaawo enkuluze zino ezaasooka okuwandiikibwa

zaalinga nkalala bukalala za bigambo ezikyusa ebigambo by’olulimi olumu okubizza

mu lulala. Noolwekyo omuntu omu yandigambye nti zaali tezituukiriza bisaanyizo

bya nkuluze.

Landau (1989 : 37) kino akikkaatiriza bw’agamba nti:

“The earliest word reference books for English speaking people were

bilingual glossaries that provided English equivalents for

Latin or French words.”

ekivvuunulwa nti:

“enkuluze z’aboogezi b’Olungereza ezaasooka byali bitabo bya

nkalala za bigambo bya Lulattini oba Olufalansa nga

biweereddwako eby’Olungereza ebikongojja amakulu gaabyo.”

“Enkuluze” zino zirabika nga zaayambanga boogezi ba Lungereza okuyiga

ebigambo by’Olulattini oba Olufalansa. Wabula era nabo zaabayambanga kitono

olw’okubanga tezaamalangayo lulimi. Waliwo ebigambo mu lulimi olumu nga

11
tebirina bikongojja makulu gaabyo butereevu mu lulimi olulala (direct equivalents),

noolwekyo ebyo tebyafiibwangako era nga ne Gorman (1972 : iii) bw’agamba:

“It is rarely possible to identify two terms in different languages that are

completely equivalent in meaning, even when the languages concerned share

a common social and cultural heritage”

ekivvunulwa nti:

“Kizibu okusanga ebigambo ebibiri mu nnimi ez’enjawulo nga

bifaanaganira ddala mu makulu, ne bwe kiba nga ennimi ezivunaanyizibwako

zifaanaganya ensibuko”

Kino kyawaliriza abantu okulaba obuzibu obwali mu kumala gawandiika nkalala za

bigambo nga baziyita enkuluze era ne bassa kaweefube mu kuwandiika enkuluze

zennyini.

Mu bbanga eryaddako, abantu baalaba omugaso ogwali mu nkuluze

ezeesigamiziddwa ku bitegeero, ate oluusi nga za kiruubirirwa kya njawulo,

okusinga ezo ezisengekeddwa ekiwalifu.

12
McArthur (1982) yawandiika enkuluze etegekeddwa okusinziira ku bitegeero. Mu

nkuluze eno, aleeta wamu ebigambo ebirina amakulu agafaanagana n’abissa mu

birimba wamu n’amakulu gaabyo. Alagiramu ebyokulabirako ebiraga obufaanane

n’obukontanyi bwabyo. Mu kirimba muyinza okubaamu ebigambo ebifaanana oba

ebikontana mu makulu. Noolwekyo enkuluze ye eyamba abantu okumanya engeri

y’okweyambisaamu ebigambo na wa we balina okubyeyambisiza. Yafa ku birimba

by’amakulu kkumi na bina, nga muno mulimu ebigambo omutwalo gumu

n’ekitundu.

McArthur (1982 :vi) ayoleka endowooza enkyamu eriwo ku ntegeera y’enkuluze

bw’agamba nti:

“Indeed, most of us think about word books as ‘dictionaries’, and dictionaries

as, necessarily, having an alphabetical order. There has, however, been an

alternative tradition, in which compilers have used groups of topics instead of

the alphabet as their basis for organization”

ekivvuunulwa nti:

“Mu butuufu bangi ku ffe tulowooza ku bitabo by’ebigambo nga ‘enkuluze’,

ate ne tutwala enkuluze nti zirina kuba nga zisengekeddwa kiwalifu. Wabula,

waliwo enkola endala, abategesi b’enkuluze mwe beeyambisiriza ebirimba

13
by’ebigambo mu kutegeka enkuluze zaabwe mu kifo ky’okweyambisa

walifu”.

Roget (1966) yawandiika enkuluze ekwata ku birimba by’enfaananyamakulu

(synonyms). Etegekeddwa mu mitwe, egirimu ebigambo ebigya obulungi mu

bwebungulule obumu. Alina emitwe lwenda mu kyenda (990) egiweereddwa

amannya amannyonnyozi, nga wansi waagyo, ebigambo ebifaananya amakulu

bimenyeddwa era ne ginnyonnyolwa. Enkuluze eno eyamba nnyo omuntu ali mu

matigga ng’abuliddwa eky’okwogera oba okuwandiika.

Roget (1966 :……..) akkaatiriza obukulu n’omugaso gw’enkuluze ey’ekika kino

bw’agamba nti:

“A writer, or other user of words, in the throes of composition, conscious of

what he wants to say but at a loss for a word that will best express it,

gratefully turns for help to the work of reference which has what he needs…

he consults a thesaurus”.

ekivvuunulwa nti:

“Omuwandiisi, oba omuntu yenna eyeeyambisa ebigambo, ng’ali mu matigga

ng’awandiika oba nga ayogera, ng’amanyi ky’ayagala okwogera, wabula

14
ng’abuliddwa ekigambo ekiyinza okukiggyayo obulungi, anoonya obuyambi

mu tterekero ly’ekyo ky’ayagala… yeeyunira enkuluze ey’ebitegeero”.

Comenius (1631) yawandiika enkuluze ekwata ku ddiini Janua Linguarum

Roserata. Yafuna emitwe kikumi (100). Mu kibinja ekimu yagendanga assaamu

ebibinja ebirala eby’ebigambo ebifaananya amakulu.

Enkuluze zino zonna zirabika nga zifa nnyo ku bigambo ebifaananya oba

ebikontanya amakulu. Omunoonyereza noolwekyo ye yayawukanako ku bano,

kubanga ye yakizuula ng’ekigambo okunnyonnyolwa ne binnaakyo bwe bifaananya

amakulu tekituusa mukozesa wa nkuluze mangu ku makulu gaakyo. Wabula

amakulu gasinga kufunibwa ng’ekigambo ekyo kisangiddwa awo mu nziringana

yaakyo n’ebigambo ebirala bwe biri mu lweyongerero olumu.

Mu Luganda nga bwe kyayogeddwako mu nnyanjula, enkuluze ez’engeri eno

tezinnaba kuwandiikibwamu, wabula waliwo enkuluze ez’engeri endala ezizze

ziwandiikibwa okuva eyo ku ntandikwa y’ekyasa eky’amakumi abiri. Enkuluze zino

zonna za nnimi bbiri. Waliwo n’ebitabo ebirala ebitali nkuluze wabula nga biwa

ekifaananyi ku mulimu omunoonyereza gwe yakolako. Enkuluze zino awamu

n’ebitabo ebyo byetaaga okwekenneenya newankubadde nga tebifaananira ddala

mulimu gwa munoonyereza.

15
Le Veux (1917) yawandiika enkuluze eyasookera ddala mu lulimi Oluganda Premier

essai de Vocabulaire Luganda-Francais. Enkuluze eno etwalibwa okuba nga

y’ekyasinze ettutumu mu Luganda era ng’endala zonna ezizze ziwandiikibwa

zeesigamiziddwa ku eno.

Murphy (1972 :ix) akakasa omulimu gwa Le Veux bw’agamba nti:

“Premier essai de Vocabulaire Luganda-Francais, The most comprehensive

dictionary of the Luganda language and the major source for all subsequent

dictionaries.”

ekivvuunulwa nti:

“Premier essai de Vocabulaire Luganda-Francais, Enkuluze y’olulimi

Oluganda esinga obugazi era okwesigamye enkuluze endala zonna ezizze

ziwandiikibwa.”

Doke (1860 : 12) naye ayongerea okukkaatiriza obukulu n’obunyuvu bw’enkuluze

ya Le Veux. Agamba nti:

“Father Le Veux’s dictionary may be reckoned among the dozen or so really

important Bantu dictionaries; and we may consider that Le Veux has

16
contributed more than anyone else to an exact knowledge of the Ganda

language”

ekivvuunulwa nti:

“Enkuluze ya Father Le Veux eyinza okutwalibwa nga emu ku nkuluze

z’Ekinnabantu ekkumi n’ebbiri oba okusingawo ezisinga omugaso; era

tuyinza okukitwala nti Le Veux akoleredde nnyo amagezi g’olulimi

Oluganda okusinga omuntu omulala yenna.”

Kitching ne Blackledge (1952) baawandiika enkuluze A Luganda-English and

English-Luganda Dictionary. Enkuluze eno ekyusa Oluganda mu Lungereza ate

n’Olungereza mu Luganda. Obukulu bw’enkuluze eno bwo busingako ku

bw’enkuluze endala ezaawandiikibwa mu kiseera ekyo, kubanga yo esobola

okuyamba aboogezi b’ennimi zombi nga bayiga olulala.

Snoxall (1967) yawandiika enkuluze ekyusa Oluganda mu Lungereza. Professor

A.N. Tucker ow’omu School of Oriental and African Studies, mu University of

London yamuyambako mu kuteekako ebigobererwa mu kwatula.

Murphy (1972) yeeyambisa nnyo enkuluze ya Snoxall bwe yali ng’awandiika eyiye

Luganda-English Dictionary erabika nga tekyuka nnyo ku y’oli.

17
Enkuluze ezaakawandiikibwa mu lulimi Oluganda zirabika nga zirina

obwannyinoomu obulabikirawo. Zonna za nnimi bbiri, zisengekeddwa kiwalifu ate

nga zirina ekiruubirirwa eky’awamu. Noolwekyo omunoonyereza yakizuula nga

wakyaliwo eddibu ery’amaanyi mu lulimi Oluganda n’obwetaavu

bw’okuwandiikayo enkuluze ey’olulimi olumu, ng’erina ekiruubirirwa eky’enjawulo

era nga yeesigamiziddwa ku bitegeero.

Walusimbi (1999 :1) annyonnyola ebyobuwangwa ng’abyesigamya ku mbeera

z’abantu ab’awamu era ng’alaga obukulu bw’olulimi mu byobuwangwa. Agamba

nti:

“Bwe twogera ekigambo ebyobuwangwa tutegeeza embeera z’abantu

ab’oluse olumu, oba ab’eggwanga erimu. Embeera eno ng’ezingiramu

ebintu byonna bye bakola ebifaanagana era ebibaawula ku Bantu

ab’amawanga amalala. Ekisingira ddala obukulu mu byobuwangwa

lwe lulimi. Olulimi ye nkuluze y’ebyobuwangwa.”

Amenya ebintu bingi ebisangibwa mu byobuwangwa nga empisa, obulombolombo,

okufumbiriganwa emizannyo, emirimu, eby’emisango n’ebirala. Alondayo ekirimba

kimu mu ebyo “okufumbiriganwa” n’alaga entambula yaakwo okuviira ddala ku

ntandikwa okutuuka gye kukomekkerezebwa.

18
Kaggwa (1905) yawandiika ekitabo ekikwata ku byobuwangwa by’Abaganda

ebikulu. Atunuulira ebirimba by’ebyobuwangwa amakumi asatu ebigazi ddala:

empisa z’e Magonga, okusika kwa Kabaka, okukula kwa Kabaka, Bassekabaka,

okuwasa kwa Kabaka, Nnabikande ne Bayomba, olubiri lwa Kabaka, ekiwendo,

olutabaalo, omusolo, entebe za Kabaka, okufumbirwa, okwekuuma kw’abakazi,

abalongo, emmere ey’emizizo, olumbe, Balubaale n’abalaguzi, emisango, obuyizzi,

ekirayiro, ebyambalo, emizannyo, ebivuga n’ennyimba, obuvubi, obubazzi,

empingu, emirimu emirala, okwekuuma, engeri z’abantu, n’ekitiibwa kya Kabaka.

Omwo mw’agenda alambululira buli kalonda akwata ku kintu ekyo, okuva gye

kitandikira okutuuka gye kiggweera.

Nsobya mu kitabo kye The New Kiganda Mathematical System for Astronomical

Calculations1 alaga ebigambo by’Abaganda ebikozesebwa mu kubala okulabika nga

kwa kikugu. Ebigambo bye bino tamala gabikubawo wabula alambika bulungi

ensonga ezaaviirako enkozesa yaabyo. Ebigambo ebyo yabissa mu lukalala ku luuyi

olumu ate ku lulala n’assaayo eby’Olungereza ebitegeeza ekimu n’eby’Oluganda

by’akolako.

2.1 OBUKODYO N’EMPENDA

i. Omunoonyereza yeeyambisa nnyo ebibuuzo eby’omumwa. Yatuukirira

abantu, naddala abakulu abasangibwa mu byalo abalabika nga bamanyifu

1
Omwaka mwe kyafulumira tegulagibwa.

19
mu mirimu, emikolo n’ebyobuwangwa ebirala, n’ababuuza engeri gye

bakolamu oba gye baakolangamu ebintu ebyo.

ii. Omunoonyereza naye yeenyigira mu kwetegereza ebintu ebimu nga

bikolebwa n’akakasiza ddala engeri gye bikolebwamu.

iii. Ebyo waggulu omunoonyereza kwe yagatta okusoma ebitabo

eby’enjawulo ebyekuusa ku mulimu gwe , nga enkuluze ezaasooka

okuwandiikibwa, ko n’ebitabo by’obuwangwa.

Omunoonyereza yeeyambisa nnyo ebbago ly’enkuluze ewandiikibwa mu Makerere

Institute of Languages mu kufuna ebigambo ebimu awamu n’amakulu gaabyo.

20
3.0 OKUGEZESA EBYATEEBEREZEBWA

3.1 ENNYANJULA

Enkuluze eva mu kunoonyereza kuno yandiba nga y’esookedde ddala mu lulimi

Oluganda mpozzi ne mu nnimi za Uganda endala enzaaliranwa. Enneeyambisa

y’enkuluze eno eyawukanira ddala ku nneeyambisa y’ezo eziriwo mu nnimi zino.

Noolwekyo kigwanidde omukozesa waayo asooke yeetegereze bulungi ebisooka

bino (endagiriro) ebiweereddwa wammanga okusobola okugifunamu obulungi.

3.2 ENNEEYAMBISA Y’ENKULUZE

3.2.1 Ensengeka n’ennamba

Enkuluze erimu enneeyongerero kkumi. Buli lweyongerero lulimu ebigambo

ebinnyonnyoleddwa amakulu wansi waabyo. Ebirimba byonna, buli kimu

kirambiddwa okusinziira ku nnukuta z’ekiwalifu, mu ngeri eno;

KLA ABALONGO. Ennukuta esooka eyimirirawo ku lw’ekibinja

ky’ebyobuwangwa olweyongerero mwe luba lugwa. Eyookubiri ku lw’omuyitiro

(medium) gw’ekirimba ekyo; luyinza okuba olukalu(L), amazzi(M) oba ebbanga(B).

Ennukuta esembayo yo ya nsengeka ya kiwalifu.

Ebigambo kinnakimu nabyo birambiddwa mu bibinja byabyo okusinziira ku nnukuta

ezirambiddwa ku linnya ly’olweyongerero ekigambo mwe kiba kigwa, nga

21
zigattiddwako omuwendo, ogulaga ekifo mwe kisangibwa mu bigambo ebirala bwe

biri mu lweyongerero olumu nga wano; KLA001 omulongo

3.3.0 OKUZUULA EBIGAMBO N’AMAKULU GAABYO

Ebigambo n’amakulu gaabyo bisobola okutuukikako mu ngeri bbiri:

3.3.1 Okweyambisa ebirimba

Buli kirimba kirambiddwa n’ennukuta ssatu era nga eyookusatu eraga nsengeka ya

kiwalifu mu ngeri eno; KLA. Omuntu bw’aba amanyi ekirimba ekigambo mwe

kisangibwa, asobola okukebera omuko okusangibwa ekirimba ekyo mu ndagiriro

eweereddwa ku ntandikwa n’agenda butereevu ku muko/miko egyo n’anoonyaamu

ekigambo ky’ayagala.

3.3.2 Okweyambisa enkookero y’ekiwalifu

Ku nkomerero y’enkuluze eteereddwayo olukalala lw’ebigambo byonna nga

bisengekeddwa kiwalifu ku ludda olumu, ate ku lulala ne wabaayo ennamba zaabyo

ez’ennukuta n’emiwendo (alphanumerical codes). Omweyambisa noolwekyo alina

okugoberera emitendera gino wammanga okutuuka ku kigambo ky’ayagala.

i. Kebera ekigambo ky’oyagala mu lukalala lw’ekiwalifu ofune

ennamba yaakyo.

ii. Genda ku ntandikwa mu “ebirimu” olabe omuko okuli

olweyongerero ekigambo ekyo mwe kigwa.

22
iii. Weeyambise omuwendo gw’ekigambo ekyo okebere we kiri mu

lweyongerero ofune amakulu gaakyo.

3.4 EBIGAMBO EBIGWA MU BIRIMBA EBINGI

Ekigambo bwe kiba nga kigwa mu birimba ebisukka mu kimu, era kyayingizibwa

emirundi egyo gyonna mu lukalala lw’ekiwalifu, kubanga ennamba yaakyo eba ya

njawulo mu buli kirimba mwe kisangibwa.

3.5 EBIGAMBO EBIGATTE

Waliwo amannya, ebikolwa oba ebigambo ebirala ebifunibwa oluvannyuma

lw’okugatta ebigambo bibiri oba okusingawo ebyetongodde. Ebigambo bino

bisobola okuwandiikibwa nga byawuddwa nga: ssaalongo omukulu, okusamba

ebbumba oba nga bigattiddwa wamu nga: kayeyokatono. Ebigambo bino

biweereddwa embu z’ebigambo mwe bigwa. Olubu lw’ekigambo eky’engeri eno

lulabika nga lufugibwa olubu lw’ekigambo ekisooka ku bigambo ebikikola.

23
3.6 EBIFUNZE EBYEYAMBISIBWA MU NKULUZE.

L 1. Ebyobuwangwa ebirabwako (ng’eri mu kifo ekisooka)

2. Omuyitiro gw’oku lukalu (ng’eri mu kifo ekyokubiri)

K Ebyobuwangwa nnankolagana

W Ebyobuwangwa nnabirowoozo

M Omuyitiro gw’omu mazzi

l Linnya

kk Kikolwa

ew Nnakeewuunya

tbk Kitobeko

24
KLA ABALONGO KLA005 emmandwa l [9n/10n]

omusamize oba kabona wa lubaale


KLA001 omulongo l [1mu/2ba]
omu. Omuntu lubaale mw'ayita
omu ku baana ababiri abazaalibwa
okwogera eri abantu era nabo mwe
omulundi ogumu.
bayita okwogera ne lubaale.

KLA002 ssaalongo l [1mu/2ba] Noolwekyo emmandwa ya Muwanga,

omusajja azadde oba azaala abalongo. ye muntu Muwanga mw'ayita

okwogera eri abantu era n'abantu mwe


KLA003 nnaalongo l [1mu/2ba]
bayita okwogera ne Muwanga.
omukazi azadde oba azaala abalongo.
KLA006 Muwanga l [1mu]
KLA004 omulubaale l [1mu/2ba]
lubaale w’Abaganda omukulu. Ye
omuntu, mu ddiini y'Abaganda
mugabi era y’awanga buli kimu.
ey'ennono, asobola okuwuliziganya
Abaana oba abalongo tebayinza
obutereevu ne balubaale, era
kwalulwa nga Muwanga taliiwo.
ng'asobola okuteebereza ebinaabaawo
Ekiggwa kye kyabeeranga Nseke mu
mu maaso n'okukola ebintu ebirala
Mawokota.
ebisusse obw'omuntu. Ew'ono

ssaalongo gy'alaga okulagulwa KLA007 okulagula kk

ng'obudde, era omulubaale amugamba omulubaale okuwa ssaalongo amagezi

bw'ati: "Genda olabe emmandwa ya oba okumubuulira ky'alina okukola.

Muwanga y'enaakuggala".

25
KLA008 okubika abalongo kk KLA011 nnaalongo omukulu l

ssaalongo okugenda n'ategeeza [1mu/2ba]

kitaawe oba eyasikira kitaawe nga omuwala omuto aggyibwa ku ludda

bw'azadde abalongo. Kino akikola nga lwa nnaalongo, era ono y’akola

wayiseewo ennaku bbiri ng'avudde emikolo egisinga obungi nnaalongo

ew'omulubaale okulagulwa. gye yandibadde akola. Apollo Kaggwa

ye agamba nti nnaalongo yennyini


KLA009 ssaalongo omukulu l
kazaalabaana ye nnaalongo omukulu.
[1mu/2ba]

omwana omulenzi gwe bawa KLA012 okuggala kk

ssaalongo ewaabwe ng’agenze (omulubaale eyalagula ssaalongo)

okubika abalongo n’ajja naye okujja n'akiika oluggi lwe mu

era ono y’akola omukolo mulyango era n'amutemera n'ebituli

gw’okugalama. bibiri ku nnnyumba ye emmanju

KLA010 lubuga l [1mu/2ba] n'akolawo ekisenge.

omwana omuwala kitaawe wa


KLA013 ekibululu l [7ki]
ssaalongo gw’amuwa wamu ne
ekisenge eky'emmanju ekibaamu
ssaalango omukulu. Ono y’aba azze
enzikiza, ekiba kikoleddwawo mu
okuyamba ku nnaalongo mu kulabirira
kaseera ako nga beeyambisa ekintu
abaana.
nga eggigi okwawula mu kisenge

ekimu ekiba kiriwo. Muno nnaalongo

26
ne baganda be ababa bazze okuzina lw’oludda olulala. Ssaalongo n’abantu

abalongo mwe babeera. be be batala amajoba nga ssaalongo

amaze okussa ettooke mu ddiiro.


KLA014nnakitembe l [1mu/8bi]

ekitooke ekirina omuzingoonyo KLA017 endege l [9n/10n]

ogulina langi eya kakobekobe gye akade akatonotono akasibwa ku

gusembera ne ku ndagala. kugulu ne kagenda nga kavuga,

omuntu bw’aba ng’atambula.


KLA015 ebbombo l [5li]
Ssaalongo n’abantu be babusiba ku
kika kya muddo ogukula gulandira
magulu gaabwe, buli we bayita
wansi. Gulina ebikoola ebigazigazi era
baleme okubakubako.
nga bya kiragala nnyo. Guno

ssaalongo aguzingirira ku nkota KLA018 empogola l [9n/10n]

y’ettooke lya nnakitembe gy’abba ettooke eritali ppaate. Zino abantu ze

ew’omulubaale eyamuggala n’agissa balya okutuusiza ddala nga bamaze

mu ddiiro. Ab’e Buddu baguyita okulya embuzi ey’omugerengejjo.

“lujjula”.
KLA019 okutuzza kk

KLA016 okutala amajoba kk (omuntu) okubeera ng’akoona ku

okumwa ebiba bina mu mutwe. ngoma kyenkana buli katikitiki kamu

Olukoloboze olumu lumwebwa nga nga kayiseewo. Ssaalongo atuzza

luva mu kyenyi ne lutuukira ddala engoma okutuusiza ddala ng’omwezi

enkoto, ate olulala ne luva ku kutu guweddeko.

okw’oludda olumu, okutuuka ku

27
KLA020 ekisenso l [7ki/8bi] okugalama. Abantu ababa bayenze

ensansa eziyuziddwayuziddwa ne tebalya ku mbuzi eno.

zisibwamu ekintu ekyesibwa abazinyi


KLA024 okugalama kk
mu kiwato nga bagenda okuzina.
(ssaalongo) okuggya ekiwottonono
Omwezi bwe guggwaako nga
nnaalongo ky’aba abisse ku kinnyi kye
ssaalongo atuzza engoma, olwo
(ng’agalamidde bugazi), nga
n’alyoka alagira baganda be ne batema
yeeyambisa obusajja bwe. Kino
ebisenso.
kikolerwa ku ttale ng’abantu bakubye

KLA021 essaaniiko l [5li] amabega nnaalongo gy’aba

endagala ezifumbisiddwako. Ekisenso agalamidde.

kya nnaalongo kyo bakikola mu


KLA025 ekinnyi l [7ki/8bi]
ssaaniiko.
ebitundu by’omukazi eby’ekyama.

KLA022 empongoloni l [9n/10n]


KLA026 ekiwottonono l [7ki/8bi]
engule eriko ebyoya by’enkusu gye
ekikuta ky’oku mpummumpu. Kino
bakolera ssaalongo omukulu
nnaalongo ky’abikka wamberi,
n’agitikkira ku mutwe gwe.
ssaalongo n’alyoka akimuggyako.

KLA023 embuzi ey’omugerengejjo l

[9n/10n] embuzi ssaalongo gy’atta KLA027 ekitanyi l [7ki/8bi]

ekiro ng’omwezi omulubaale gwe omwana ow’emabega. Bwe bamala

yamulaga gubonese, n’eriibwa era okugalama, omutaka eyaggala

olumala okugirya ne bagenda ku ttale ssaalongo atwala ebitanyi ku ttale

28
n’abifugika mu masiga KLA031 entujjo2 l [9n]

agaafumbibwangako emmere ekinyumu ekyo ekibaamu okukuba

ng’abalongo tebannazaalibwa. engoma entujjo1. Kiba kya maanyi era

abamu bafunamu ne bannaabwe ne


KLA028 okufugika kk
bafumbiriganwa.
okukweka oba okussa ekintu wansi

w’ekirala oba munda waakyo. KLA032 okukiga kk

okuzina.
KLA1029 gawuga ew

embuuza omutaka ava okuziika KLA033 okumenya olukanda kk

abalongo abaafa nga bato gy’akozesa ssaalongo okugenda mu lutabaalo

ng’abuuza ssaalongo. Amubuuza n’enviiri ze yamwanga ng’atala

bubuuza nti “Gawuga?” naye amajoba, enjala ze yasala ku ngalo ze,

n’amuddamu nti “Gawuga”, olwo ne ekirevu, eby’enkwawa, ebbombo

yeddira ewuwe. n’olubugo lwe yaziniramu abalongo

ng’abigasse wamu, n’abisiba mu


KLA030 entujjo1 l [9n/10n]
mulambo gw’omuntu gw’asooka
engoma ezikubibwa nga bazina.
okutta. Kino kyabangawo ssinga
Mubaamu enkalabizi emu,
Kabaka yagabanga olutabaalo nga
kangujunguju emu ne kakalaba emu.
ssaalongo azina abalongo.
Ssaalongo asooka kuzikubira wuwe,

n’agenda ew’omulubaale KLA034 akalira l [12ka/14bu]

eyamulagula, olwo n’atandika akatundu akakutulwa ku mukundi

okuzikuba buli lunaku. gw’omwana omuto. Bwe bamala

29
okunaaza abaana nga beeyambisa n’olulimi lw’enkoko enjeru, ne

omwenge, amazzi n’amata, baddira biterekebwa wamu.

akalira ne bakagatta n’obulezi ne


KLA037 ennoga l [9n]
babiteeka mu biwero bye baba
ekitole ky’emmere ekinyigiddwamu
batunzeeko n’emikono nga olugoye.
akannya n’engalo ennene, ekikozebwa

KLA035 ensinda l [9n/10n] enva ne ziregama mu kannya ako.

ensigo eyabbululu egattibwa n’obulira Bwe bamala okuyimbira ewa kitaawe

bw’abalongo, olulimi lw’enkoko wa ssaalongo, baleeta emmere era

enjeru, n’ebbombo ekkalu ekkunye, ne kitaawe wa ssaalongo n’akoza ennoga

biterekebwa wamu butiribiri. Bino n’agiwa nnaalongo era ne

nabyo babiyita balongo. nnaalongon’akola kye kimu.

KLA036 obulezi l [14bu]

ebbombo ekkalu (ekkunye) nga

ligattiddwa n’empeke z’ensinda

30
LLB OBUBAZZI (AMAATO)

Abaganda babajja ebintu ebiwerako. Omunoonyereza teyatunuulira bubazzi bwonna

kubumalayo. Yalondobayo obubazzi bw’amaato ag’oku nnyanja, ne bukiikirira

ebibajjibwa ebirala byonna mu Buganda. Mulimu emitendera omuntu owabulijjo

gy’ayitamu, wabula ate era mulimu emitendera egiyitwamu ng’eryato lya Kabaka, so

nga tegiyitwamu bwe liba ery’omukopi. Ne ku muntu owa bulijjo emitendera

tegifaananira ddala mu bantu ab’enjawulo. Omunoonyereza yafuna omugatte

gw’emitendera gino gyonna n’afunamu omuyungiro ogw’awamu. Yagoberera okuva

ababazzi we batemera omuti okutuuka eryato bwe liggwa nga lirindiridde

kukozesebwa

LLB001 omuvule l [3mu/4mi] LLB003 nnankungo l [9n/10zi]

kika kya muti ogusalwamu embaawo. embuzi Gabunga oba omuntu omulala

Gugejja nnyo era tegutera kuliibwa Kabaka gw’aba alonze gy’agenda

nkuyege. Guno gwe batema ne nayo ng’agenda okutema omuvule

bagubajjamu omugongo. (eryato bwe liba erya Kabaka).

Embuzi endala eyitibwa


LLB002 amawata l [6ma]
Balyamanyama.
ekifo awatemwa omuti

ogw’okubajjamu eryato. LLB004 enda l [9n]

munda w’eryato.

31
LLB005 omugongo l [3mu/4mi] LLB008 olulimi l [11lu/10n]

ekitundu ky’eryato ekibajjibwa mu akati akatono era nga kawanvu

nduli y’omuvule ng’egenda akabeera wansi ddala ow’omugongo

esokoolwamu ebibajjo mpolampola, gw’eryato era kuno ekiwenda

ekikola nga entobo y’eryato era ky’ebulumba kwe kiruma.

okuyungibwa embaawo endala LLB009 ensanda l [9n/10n]

waggulu waakyo. ekitundu ky’eryato ekiyitamu nga

kisooloobye mu maaso.
LLB006 omutima l [3mu/4mi]

ekitundu ekya wakati mu nduli LLB010 olubanga l [11lu/10n]

y’omuti. Kiba kigonvugonvu era nga ekifo omuntu yenna ali mu lyato

kisobola okutereka amazzi amangi mw’atuula.

okumala ebbanga eddene. Bwe baba


LLB011 ebulumba l [23e]
babajja omugongo noolwekyo,
emabega w’eryato era ebeera
omutima bagusokoolamu ne
olubanga lw’omugoba gy’atuula.
guggweeramu ddala okwewala eryato

okuvunda amangu. LLB012 omugoba l [1mu/2ba]

omuvuzi w’eryato.
LLB007 omutwe l [3mu/4mi]

ekitundu ky’eryato eky’omu maaso, LLB013 okukyamira kk

ekikulembera ng’eryato litambula. okutema oba okubajja.

32
LLB014 omuyovu l [3mu/4mi] LLB018 empano l [9n/10n]

omuti ogusinga okubajjibwamu Akamu ku buti obusongovu obukubwa

amabaasi. Guba mumyukirivu, mu lusalosalo olusimwa mu muti

muwanvu nnyo era nga guvaamu okusobola okugugaziya.

embaawo eŋŋumu ennyo. Omuti


LLB019 okulima kk
omulala ogukozesebwa ennyo
okusokoola olusalosalo. Kino bakikola
y’enkoba.
nga beeyambisa embazzi eba

LLB015 ebbaasi l [5li/6ma] ewangiddwa nga enkumbi.

olumu ku mbaawo eziyungwa oba


LLB020 oluwero l [12lu/10n]
ezisibwa waggulu ku mugongo. Oba
olumu ku mbaawo ezisibwa waggulu
olubaawo olusooka ku mugongo
ku mabaasi. Oba olubaawo oluddako
gw’eryato eruuyi n’eruuyi.
oluvannyuma lw’ebbaasi eruuyi

LLB016 omusa l [3mu/4mi] n’eruuyi.

ekitundu ky’omuti ekya waggulu eno


LLB021 omutuusa l [1mu/2ba]
awaliraanye amatabi.
oyo asiba eryato (alisiba amabaasi,

LLB017 ekikolo l [7ki/8bi] empero n’ebirala) n’okulirongooseza

ekitundu ky’omuti ekya wansi eno ddala okutuusa nga liwedde.

awaliraanye enkolo yaagwo. Bwe


LLB022 enjeyo l [9n/10n]
baba babajja amabaasi, basima
embazzi omutuusa gye yeeyambisa
olusalosalo nga luva ku musa
okubajja enku ezaasigalira wakati
okutuukira ddala eno ku kikolo.

33
w’omugongo era n’okubajja mu LLB027 kayozo l [9n/10n]

mabbali g’omunda. akabazzi akatono, kabeera n’amannyo

abiri agalinga amakabi naye nga


LLB023 enku l [10n]
galina obwogi wakati. Keeyambisa
ekinyama ky’omuti ekinene ekiba
okuyola kungulu ne kirabisa bulungi
kisigadde mu mugongo nga kyetaagisa
enjola z’eryato.
okutemamu, omugongo gugaziwe

n’okuwewuka. LLB028 enjola l [10n]

amatiribona agabajjibwa kungulu


LLB024 kikumbi l [9n/10zi]
kw’eryato nga gafaanana nga
embazzi ebeera engazigazi nga
obusalosalo obwenyoolanyoola,
enkumbi ensimu, esibibwa ku muyini
okusobola okulinyiriza.
omumpimpi, omutuusa gye

yeeyambisa okulongooseza ddala LLB029 omulumyo l [3mu/4mi]

omugongo ne gunyirira bulungi. Laba OMUWUNDA

LLB025 kayeyokatono l [9n/10n]


LLB030 omuwunda l [3mu/4mi]
embazzi efaanana nga eyasa enku,
ekyuma ekiba ekisongovu ennyo nga
eyeeyambisibwa okutemaatema
kiriko n’obwogi obuwanvuko,
emmanga ezituulwako nga bavuga
kyenkana nga oluta lulamba,
eryato.
ekyeyambisibwa okuwummula entuli
LLB026 okuluma kk ezisibirwamu amabaasi n’empero.

(olubaawo) okuyingira ne lugya era ne

lunywerera bulungi awo we lusibirwa. LLB031 okukondera kk

34
okunyiriza obulungi omugongo, LLB036 empamba l [9n/10n]

kungulu ne munda. oluti olutonotono olubajjibwa nga

lwetooloovu, era nga lusongovu,


LLB032 olusinga l [11lu/10n]
olukubwamu entuli omuyisibwa
akaso akaweweevu akakozesebwa
ensinga okusobola okunywereza ddala
okusiba n’okunywereza amabaasi ku
obulungi ebika.
mugongo. Baziyisa mu ntuli eziba

zaawumuddwa edda. LLB037 okukonja kk

okusonseka oba okunyigiriza eggalwe


LLB033 eggalwe l [5li]
mu ntuli z’amabaasi nga gamaze
entoloogano (z’ebyayi) ezissibwa mu
okussibwamu empamba, amazzi
bugattiro bw’omugongo n’amabaasi
galeme okufulumirangamu.
okusobola okumaliramu ddala

obutulituli obuyinza okuba nga LLB038 omufulubwa l [3mu/4mi]

bwasigalamu mu kugatta. kika kya muti ogusinga okukolwamu

emmanga, kubanga teguwumba.


LLB034 akamba l [8bu]

omuti ogutemwamu obubajjo LLB039 nkuzi l [9n]

obuteekebwa kungulu kw’obugattiro ekitundu ky’omutwe gw’olubanga

bw’amabaasi n’omugongo. ekifuluma ebweru

w’eryato. Omutuusa agukulunga


LLB035 omunyolo l [3mu/4mi]
bulungi ne guba mwekulungirivu.
olukugiro lw’omugongo

n’olw’amabaasi.

35
LLB040 essa l [5li/6ma] LLB044 ekiwembo l [7ki/8bi]

akamu ku bunnya obutemebwa ku omuti ogubajjibwamu ensalosalo

mpero, obusobozesa empero okugya omuyingira embaawo ez’ebulumba,

obulungi mu mmanga eziba zimaze n’ez’emutwe.

okuwangibwamu.
LLB045 ekiwenda l [7ki/8bi]

LLB041 okwola kk omuti ogubeera gwesimbye ebulumba

okulongoosa eryato n’akabazzi ate n’emutwe, omuyingira ebitundu

akatono ne lirabika bulungi nga by’amabaasi n’eby’empero. Bakibajja

teririiko bugulumbyegulumbye. nga kijja kisondowala okuva wansi

gye kigattira ku mugongo okutuuka


LLB042 eggami l [5li/6ma]
waggulu, era waggulu gye kikoma,
omuti ogugatta eryato emutwe.
bakulungayo akatwe akafaanana nga
Gubeera musongovu era nga guyitamu
omutwe gw’olubanga era ne
ekitundu kya nta nga bbiri eruuyi
bakoolako enjola ezifaanana nga
n’eruuyi.
amannyo g’ensaamu. Ekiwenda

LLB043 ekiyiwo l [7ki/8bi] eky’ebulumba kyo bakirumya ku

ekifo mu lyato awasenerwa amazzi lulimi kwennyini.

agayingira mu lyato. Mu kifo kino


LLB046 ggerenge l [1mu]
wabeerawo emmanga mukaaga.
ettaka erimyukirivu, eritabulwa

n’omubisi gw’emberenge, ne

binnyikwamu eggalwe ly’ebyayi ne

36
byeyambisibwa okusiiga eryato ku LLB051 enkuyi l [9n]

mpero, n’ebitundu ebirala ebitayingira ebyoya by’olusove (ebiddugavu)

mu mazzi. n’eby’enkoko ebimyufu nga

bigattiddwa wamu. Bino bye bisibwa


LLB047 kikulwa l [1mu]
ku ddindi, ne liwangibwa ku muti
Laba GGERENGE
gw’enzo ogwasibibwa mu mayembe

wakati.
LLB048 mupala l [1mu]

Laba GGERENGE LLB052 ekisaggo l [7ki/8bi]

oluwuzi olusibiddwako ensimbi


LLB049 eddindi l [5li/6ma]
ennyingi. Nnannyini lyato
omuti okutemebwa ekitundu ne
ng’aliwunda, addira ekisaggo
kusibwako ebyoya by’olusove
ky’ensimbi n’akisiba ku kikuzzi ekiri
n’eby’enkoko ebimyufu, ne
ku ddiba eriba limaze okuzingirirwa
kiwangibwa ku muti gw’enzo
ku kituttwa ky’eddiba erinyweza
ogwasimbibwa mu mayembe wakati,
amayembe.
ng’ekigendererwa kya kwongera

kunyiriza lyato. LLB053 omusasi l [3mu/4mi]

akagwa akazingibwa mu ssubi


LLB050 olusove l [11lu/10n]
ly’obuyanja. Kabeera kalekeddwamu
kika kya kinyonyi, kirina obulago
obusubi obuleebeeta. Kano kasibwa
obuwanvu ne langi enzirugavu,
ku kiwenda eky’emutwe, oludda
kibeera nnyo okumpi n’ennyanja era
olumu ate olulala ne kasibwa mu
kirya ebyennyanja.

37
mayembe wakati, ne kaleebeetera mu LLB057 omwoko l [3mu/4mi]

bbanga eryawula ensanda n’ekiwenda. ogumu ku miti ebiri emiwanvu era

emigumu, egyeyambisibwa
LLB054 akabaya l [12ka/14bu]
okusindika eryato okulituusa ku ttale.
akasasi akaleetebwawo akagwa ako

(omusasi) era mwe kaleebeetera. LLB058 ettale l [23e]

ku lukalu lw’ennyanja.
LLB055 enkasi l [9n/10n]

ekiti ekibajjibwa nga kiwanvuko, LLB059 oluyina l [11lu/10n]

wabula nga ku luuyi olumu olulagala olusensuddwa. Eryato bwe

kibyabyatavu nga omulawo, lituusibwa ku ttale, baligezesa nga

ekyeyambisibwa okusala amazzi balivuga mu nnyanja nga beesibye

eryato liryoke litambule awamu empina mu bulago.

n’okulitereeza mu kkubo lyalyo. Buli

lubanga lubajjirwamu enkasi bbiri,

okwo kwe kweyongera ey’omugoba,

era y’eba esinga obunene.

LLB056 olutiba l [11lu/10n]

akantu akatonotono akabajjibwa nga

ka kweyambisa mu kusena mazzi mu

lyato.

38
LLC005 embaalebaale l [9n/10n]
LLC OBUBUMBI
ejjinja eddene, eggazigazi era eggumu

LLC001 ekirombe l [7ki/8bi] ennyo omubumbi kw’akoonera

ekifo awasimwa ebbumba. ebisibosibo nga yeeyambisa ejjinja

eddala ettonotono.
LLC002 ebbumba l [5li]

ettaka erikwatirakwatira LLC006 ensibo l [9n/10n]

eryeyambisibwa mu kubumba. olusennyente oba olusenyusenyu

Lyeyongera obugumu buli lwe ligenda oluva mu bisibosibo ebimaze

litabulwamu ensibo n’okukubwa. okubetenterwa ku mbaalebaale,

oluvannyuma olutabulwa mu bbumba


LLC003 olutala l [11lu/10n]
okusobola okuligumya.
ebbumba eringi nga lisibiddwa wamu

mu bintu nga ebyayi, ekkutiya oba LLC007 ekyanjo l [7ki/8bi]

ekintu kyonna ekirala. eddiba eritali ggwale. Lino lye

lissibwamu ebbumba nga


LLC004 ebisibosibo l [8bi]
litabuddwamu ensibo, ne lisambwa
amayinja amagonvu omubumbi
okutuusa lwe ligondera ddala.
g’asookera ddala okukoona ne

gabetenteka, ne gafuukira ddala nga LLC008 okusamba ebbumba kk

omusenyu ng’atandika omulimu gwe okusotta ebbumba eritabuddwamu

ogw’okubumba. Olumu biba bipapajjo ensibo okutuusiza ddala lwe ligonda.

bya nsuwa, entamu oba ebibumbe Abamu balizingira mu ddiba

ebirala ebyayatika edda.

39
ly’ekyanjo ne bakuba nnyo n’emiggo LLC012 omwali l [3mu/4mi]

okutuusiza ddala lwe ligonda. 1. entamu ekyali ku mutendera gwayo

ogusooka mu kubumbwa. Ebeeraa


LLC009 enkondwe l [9n]
tennakala era omubumbi abeera
omugogo oguvunze ne gugonderera
yaakagatta emikulungwa ku kitole
era nga gulimu amazzi mangi.
ky’ebbumba ky’asooka
Gweyambisibwa okubikka ku bbumba
okunyigaanyiga ne kifaanana nga
nga lissiddwa mu kinnya lireme
essowaani embyabyatavu. 2.
okukakanyala.
ekibumbe kyonna ekitannayokebwa.

LLC010 ekikaayi l [7ki/8bi]


LLC013 akawaawo l [12ka/14bu]
ekiwaawo ekigazigazi ekisalibwa ku
akapapajjo akatonotono akasalibwa
kita ekyatifu. Muno omubumbi
oba akamenyebwa ku kita oba endeku
mw’ayiwa amazzi, olwo n’aba
enjatifu. Keeyambisibwa mu
ng’annyikamu akawaawo nga
kulongoosa omwali.
bw’asiimuula omwali (mu nsangi zino

ekintu kyonna kisobola okukozesebwa

nga ekikaayi).

LLC011 omukulungwa l [3mu/3mi]

ebbumba ettonotono erikulungiddwa

ne lifuuka nga olugalo.

40
LLC014 okukuba omwali kk LLC017 okwola kk

okuyisa olwola ku ntamu, wansi


okusiimuula omwali munda
w’omugo okugwetoolooza gwonna, ne
n’akawaawo akabeera kannyikibwa
lukolako obutiribona obulinga
mu mazzi agaba mu kikaayi buli
obunnyannya obugulabisa obulungi.
kaseera, okusobola okubuza

emiyungiro gy’emikulungwa. LLC018 ekyokero l [7ki/8bi]

ekifo awookerwa emyali. Kiba kinnya


LLC015 omugo l [3mu/4mi]
ekimpimpi, omubumbi ky’asima, era
omukulungwa oguba nga nnamuziga
muno mw’ayaliira enku kw’avuunika
ogussibwa waggulu ddala ku mwali ne
emyali ate n’agibikka n’enku endala
gugwetooloola.
wamu n’essubi, olwo n’akoleeza

LLC016 olwola l [11lu/10n] omuliro.

engeri y’akagwa akampi akalangibwa

mu luyulu oba mu kakuta

k’akazingoonyo, akeeyambisibwa

okuteeka obutiribona ku ntamu.

41
WBD OBUDDE

Abaganda baapimanga obudde okusinziira ku bintu ebiwerako. Olumu

baasinziiranga ku mulimu oba ekintu kyonna ekikolebwa mu kiseera ekyo, olulala ne

basinziira ku bikolwa by’ebitonde ebirala nga ebinyonyi n’ensolo, so nga oluusi

baasinziiranga ne ku butonde bw’ensi obw’awamu. Okusobola okunnyonnyola

obulungi obudde bw’Omuganda mu ngeri etegeerekeka, omunoonyereza yakizuula

nga kiba kigwanidde okweyambisa empima y’obudde ekozesebwa mu nsangi zino

olw’okuba ng’abantu gye bamanyiiridde.

WBD001 amatulutulu l [6ma] WBD004 emmindi esooka l [9n]

ekitundu ky’olunaku obudde nga awo ku ssaawa nga ssatu

bwakakya, awo ku ssaawa nga kkumi ez’okumakya. Wano abantu, naddala

na bbiri. Obudde buba butandiikiriza abakazi we banywera taaba waabwe

okulaba era enzikiza egenda omulundi ogusooka.

eseebengerera mpola ddala okutuukira WBD005 emmindi eyookubiri l [9n]

ddala enjuba lw’evaayo. Omuganda awo mu ssaawa nga nnya

wano w’atandikira okubala olunaku. ez’okumakya. Wano abantu we

WBD002 olubungubungu l [11lu] banywera taaba omulundi ogwokubiri.

Laba AMATULUTULU WBD006 akalasamayanzi l [12ka]

WBD003 amaliiri l [6ma] awo mu ssaawa nga nnya okutuuka ku

Laba AMATULUTULU ttaano ez’okumakya. Akasana kaba

katandise okwakirira, era n’ebiwuka

42
nga amayanzi biba bitandise ez’olweggulo. Wano abantu we

okubuukabuuka, olw’okuba bategekera kye banaalya ekyeggulo.

ng’akasana kaba kakazizza omusulo WBD011 akalabirizabazaana

oguba gukutte ebiwawaatiro byabyo. l [12ka] tbk akasendabazaana

Abamu babwogerako nti engajaba we awo mu ssaawa nga kkumi n’emu

zirangaalira, olw’okuba ng’akasana ez’olweggulo. Wabaayo akasana

kano kaba kawoomerera. akaaka ekimpoowooze. Abantu,

WBD007 ettuntu l [5li] naddala abakozi baba

awo mu ssaawa nga mukaaga bawummuddemu ku mirimu nga boota

ogw’emisana. Akasana kaba kaaka ku kasana kano.

nnyo era nga n’abantu bannyuse ku WBD012akasendabazaana l [12ka]

mirimu gyabwe. Laba AKALABIRIZABAZAANA

WBD008 amakola g’ebyemisana l WBD013 amalya g’ebyeggulo l

[6ma] Laba ETTUNTU [6ma] awo mu ssaawa nga kkumi na

WBD009 amalya g’ebyemisana l bbiri okutuuka ku emu

[6ma] awo mu ssaawa nga musanvu ez’akawungeezi. Obudde buba

n’ekitundu okutuukira ddala ku butandiikiriza okukwata

mwenda ez’akawungeezi. Wano ng’ekitangaala kikendeera. Abantu we

abantu we baliira eby’emisana. baliira ebyeggulo era ne beggala nga

WBD010 amakola g’ebyeggulo l basegulira ensolo enkambwe.

[6ma] awo mu ssaawa nga kkumi WBD014 akawozamasiga l [12ka]

43
awo mu ssaawa nga ssatu okutuuka ku WBD018 enkoko embereberye l [9n]

nnya ez’ekiro. Abantu baba beebase awo mu ssaawa nga mwenda ez’ekiro.

era nga n’omuliro ogwafumbye Enkoko ziba zikookolima omulundi

ebyeggulo gutandise okuzikira ogusooka.

WBD019 ekinywambogo l [7ki]


WBD015 ettumbi l [5li]
awo mu ssaawa nga kkumi ez’ekiro.
awo mu ssaawa nga mukaaga
Obudde buba buluubirira okukya.
ez’ekiro. Abantu baba mu tulo
Embogo n’ensolo endala ziba
twennyini era n’ensolo enkambwe
zigugumuka mu bisulo byazo
bwe budde bwe zitambuliramu, ko
okugenda okunywa amazzi ku migga
n’ebyeneena eby’engeri endala.
oba enzizi.
WBD016 amattansejjere l [6ma]
WBD020 enkoko eyookubiri l [9n]
awo mu ssaawa nga musanvu
awo mu ssaawa nga kkumi n’emu
ez’ekiro. Enswa eziyitibwa ensejjere
ez’ekiro. Enkoko ziba zikookolima
we zibuukira era abantu baba
omulundi ogwokubiri. Obudde buba
bazuukuka okugenda
bukeeredde ddala era abantu abalina
okuzizuuka/okuzitta.
emirimu gyabwe baba bafuluma
WBD017 amatutuma l [6ma]
okugiddukira. Olunaku lw’Omuganda
awo mu ssaawa nga munaana
lukoma wano, olulala ne lutandika.
ez’ekiro. Obudde buba bugendedde
WBD021 olunaku l [11lu/10n]
ddala. Ebinyonyi ebiyitibwa
obudde okuviira ddala mu matulutulu
amatutuma biba bitandise okukaaba be
okutuuka mu nkoko eyookubiri.
tu tu tu tu…….

44
kubanga mubaamu amakungula ga

mirundi ebiri.

WBD022 ezzooba l [5li/6ma] WBD024 ddumbi l [1mu]

ebbanga okuva omwezi lwe guboneka omwaka omusajja. Gwakamu

okutuuka lwe gubula. Libalirirwa omusana mungi nnyo.

okubaamu ennaku nga abiri mu WBD025 ttoggo l [1mu]

munaana. omwaka omukazi. Gutonnyeramu

WBD023 omwaka l [3mu/4mi] enkuba nnyingi nnyo ng’erimu

ebbanga eddeneko eribalirirwa n’okubwatuka.

okubaamu amazooba omukaaga. WBD026 ekyasa l [7ki/8bi]

Lipimibwa okuva ku birime lwe ebbanga ery’emyaka (egy’ensangi

bisimbwa okutuuka lwe bikungulwa. zino) ekikumi.

Omuganda abala emyaka ebiri mu WBD027 olwasa l [11lu]

mwaka ogumu ogw’ensangi zino ebbanga ery’ebyasa ekkumi.

(ogw’amazooba ekkumi n’abiri),

LME OBUVUBI

Obuvubi gwe gumu ku mirimu egisingira ddala obugazi mu Buganda. Obugazi

bwagwo buva ku bungi bw’ebyennyanja ebisangibwa mu bifo Aabaganda mwe

bavubira. Ebifo bino biviira ddala ku bidiba ebisimwa obusimwa n’abantu, entobazi,

emigga, obuyanja n’ennyanja ennene. Mu bifo bino eby’enjawulo, ebyennyanja

ebivubwamu bya njawulo, nnolwekyo, n’ebikozesebwa mu kuvuba bya njawulo.

45
Waliwo abavubi ab’emigonjo, abasambazzi, abeezi, ab’obuyingi/obubigo, abawomi

b’enkejje, abalobi b’enkejje abeeyambisa obusambajjo n’abalala bangi.

Okusinziira ku biseera omunoonyereza bye yalina, yali tasobola kukwataganya

bavubi ba ngeri zino zonna. Noolwekyo, yatunuulira ebintu eby’awamu ebikwata

waakiri ku bavubi ab’ebika byonna oba abasinga obungi. Ebyo ebikwata ku bika

by’okuvuba kinnakimu teyabifaako.

LME001 okulagaana kk Laba KYUNGO

(abavubi) okutegeeragana nti LME005 olulago l [11lu/10n]

banaagenda okuvuba era n’ekiseera ekimu ku bisubi by’oku nnyanja

kye banaagenderamu. ebirukwamu ebiwempe ebitera

LME002 obuyanja l [] okuyitibwa ebirago. Bwe bamala

kika kya busubi obuba obutono ennyo. okuluka emigwa, bagenda ne bakuula

Bukulira ku kikolo nga bwagaagavu endago ne balukamu ekiwempe kya

nga etteete. Abavubi nga bamaze buwanvu bwa ffuuti nga ataano (50)

okulagaana, baggyira obuyanja ne n’obugazi bwa ffuuti nga ttaano (5),

babwanika ne bukala, ne babulangamu ne bakinnyika mu nnyanja.

emigwa. LME006 omuya l [3mu/4mi]

LME003 kyungo l [1mu] engeri y’olusero olubaako omumwa

emigwa egirangibwa mu buyanja omutonotono olukozesebwa okukwata

LME004 kyamba l [1mu] ebyennyanja.

46
LME007 olusinga l [11lu/10n] ekitimba ekyeyambisibwa okukwata

engeri y’ebyayi ebiva mu binyuzi ebyennyanja. Bakisiba ku lyato ne

by’ebitoogo. Bino bye byeyambisibwa batandika okwetooloola nga bwe

okuluka emiya. bakisuula ebbali okutuusa lwe

LME008 akagoota l [12ka/14bu] bamalayo ekibangirizi kye baagala.

ogumu ku miya ena emikulu egisooka LME012 ettale l [23e]

okuganzikibwa ku bubooya wakati. ku lukalu lw’ennyanja.

LME009 basenyi l [1mu] LME013 okukuza ekiragala kk

ogumu ku miya emirala (omukulu w’ekiragala) okubuuka

egiganzikibwa ebbali ku bubooya. mukazi we oluvannyuma

eryato l [5li/6ma] lw’okukwasa ebyennyanja ebingi.

LME010 eddindi l [5li/6ma] LME014 okusibiza kk

omuti ogutemwako ebitundu okuvuba okw’omulundi ogusooka.

ebisibwako emiya n’omugwa oguba LME015 okusiibulukusa kk

gusibiddwa ku lyato. okuvuba okw’omulundi ogwokubiri.

LME011 ekiragala kk

LLF OBUWEESI LLF002 amatale l [6ma]

amayinja agasaanuusibwa ne gavaamu


LLF001 ebisibosibo l [8bi]
ebyuma ebyeyambisibwa mu
Laba AMATALE
kuweesa.

47
LLF003 omuvubo l [3mu/4mi] kinnya oluvannyuma okuyiibwa

ekipapula ekigumu ekisibwako amayinja.

enkeero ku ludda olumu, nga


LLF006 embiga l [9n/10n]
tekirinaako bituli birala. Kino kye
ekyoto ekibumbwa obubumbwa mu
kibeera kinyigaanyigibwa buli kaseera
ttaka. Ettaka lisooka kusambwa
ne kiweereza empewo mu muliro nga
bulungi ne lifuuka akadongo akagumu
eyita mu nkeero; omuliro ne
ddala, oluvannyuma ne litandika
gukuumwa nga gwaka.
okubumbwamu ekyoto ekitera

LLF004 enkeero l [9n/10n] okubeeramu n’ebisenge

ekyuma ekyetooloovu nga kirimu eby’enjawulo.

ekituli munda ekigguka erudda


LLF007 omuzzanvuma l [3mu/4mi]
n’erudda, ekisibwa ku muvubo. Buli
omuti ogusinga okuggyibwamu
muvubo bwe gunyigwa empewo
amanda ageeyambisibwa mu kuweesa.
efunda mu muvubo n’efulumira mu
Oluusi gaggyibwa ne mu miti emirala
kituli ky’enkeero n’eryoka etuukira ku
nga ennongo, emittampindi oba
muliro.
n’emisese.

LLF005 ebinyuzi l [8bi]


LLF008 okufukuta kk
ekinyama ky’ekitoogo eky’omunda,
okunyigaanyiga emivubo nga bwe
ekisigalawo ng’eky’okungulu kimaze
givaamu empewo n’eyolekera omuliro
okuyuzibwako. Bino bye byaliirwa mu
ng’eyita mu nkeero. Kino omuweesi

akikola okuva ng’obude bwakaziba,

48
okuyita mu kiro kyonna okutuusiza LLF012 okwengerera kk

ddala obudde nga bukedde. (ekyuma) okumyuka ennyo wamu

n’okugonda ne kiba nga kisobola


LLF009 omulugwa l [3mu/4mi]
okuwetwa mu ngeri zonna.
ekituli omuweesi ky’amenya/ky’akuba

ku mbiga ng’obudde bukedde LLF013 omuyindu l [3mu/4mi]

ng’ayagala okutuuka ku byuma ebiba amayinja omuggyibwa emisinga gye

munda. baweesaamu buli kintu.

LLF010 amasengere l [6ma] LLF014 omusinga l [3mu/4mi]

ebisiriiza by’amatale oba ebiyinjayinja ekyuma ekitannatuukira ddala ku

ebitalina mugaso ebisigalawo mutendera ogusembayo. Bino

oluvannyuma lw’okusaanuusa amatale abaweesi bye beeyambisa okuweesa

ne baggyamu ebyuma eby’omugaso. ebintu byonna bye beetaaga.

LLF011 essasa l [5li]

ekifo kyennyini okuweesa we

kukolerwa. Kisobola okuba ekizimbe

ekitonotono oba ekifo ekirala kyonna.

49
LLG005 oluwenda l [11lu/10n]
LLG OBUYIZZI
engeri y’olukubokubo omuzizi

LLG001 okuziga kk lw’akuba oba lw’asamba ne

(omuyizzi) okunoonyereza era lwetooloola ekizigo.

n’akakasa nti ddala ensolo w’eri mu


LLG006 engombe l [9n/10n]
kifo w’agisuubira okubeera.
ekivuga ekikolebwa mu jjembe

LLG002 omuzizi l [1mu/2ba] ly’enjobe oba engabi, omuyizzi

oyo aziga. ky’afuuwa ng’amaze okuziga

obulungi ensolo w’esuze, okutegeeza


LLG003 ekizigo l [7ki/8bi]
n’okutemya ku bayizzi banne.
ekifo ensolo w’eba ezigiddwa oba
LLG007 engombe ey’ekikaayi l
omuzizi w’aba agirabidde ddala nga
[9n/10n] engombe ekolebwa mu
w’esula oba w’eriira.
ndeku. Zino ze zikozesebwa mu

LLG004 okusala ekizigo kk bitundu omutali ngabi oba njobe.

(omuzizi) okusamba oluwenda nga


LLG008 eddenge l [9n/10n]
yeetooloola ekizigo okutuukira ddala
ekivuga ekikolebwa mu bbanda oba
we yavudde ng’amaze okukakasiza
ekiwuuwa nga kiwummulwako
ddala nti akasolo tekaayiseemu, kali
obutuli ku mabbali, ekyeyambisibwa
awo. Kino kiyamba mu kutaayiza
mu ngeri y’emu n’engombe.
obulungi nga bamanyidde ddala ekifo

akasolo we kali.

50
LLG009 olutuula l [11lu/10n] okutega kk

engeri y’akatimba akalukwa mu


LLG012 obuwufu l [14bu]
bugwa obutonotono naye nga bugumu
ekkubo ly’ensolo w’eyita oba w’eba
nnyo, akeeyambisibwa okukwata
eyise. Lirabirwa ku bulambe
ensolo entono. Kabaamu amasa
bw’ebigere obusigala wansi w’eba
mafundafunda ensolo mw’etasobola
erinnye oba ku bisubi ebyewunzika
kuyita oba kutolokera ng’ebadde
ngeyitawo. Abamu bakitwala
eyingiddemu.
okutegeeza ekkubo ly’engo lyokka.

LLG010 ekitimba l [7ki/8bi]


LLG013 okutta ekizigo kk
olutuula olweyambisibwa okukwata
(omuzizi) okukakasiza ddala nti
ensolo ennene. Luba n’amasa manene
ensolo w’eri mu kifo w’agisuubira
okusinga ku g’entuula eza bulijjo.
okuba. Kino akikola ng’agenda mpola
Abayizzi bwe bawulira engombe oba
ddala ng’asooba ne yeetegereza ekifo
eddenge, nga bakwata ebitimba
ekyo w’asuubira ensolo okuba.
byabwe bagenda ew’oyo agifuuye

ng’abatwala ku kizigo. LLG014 olunyago l [11lu/10n]

oluti omuwangibwa effumu.


LLG011 omuguwa l [3mu/mi]

ekitimba ekinene ekyeyambisibwa LLG015 olugwanyu l [11lu/10n]

okukwata ensolo ennene nga engabi akamu ku buti obutonotono

n’endala. obusimbwa mu ttaka nga

51
bweyambisiddwa okuwanirira entuula Asobola okweyambisa ebigambo

oba ebitimba. ebiwerako nga bino: “Ayi lya, kwata

Ayi omulye! Kiikyo…..”


LLG016 okukubirira kk

(abayizzi) okusaggula LLG020 okusaza kk

n’okuleekaanira ekoma oba ewatali (abayizzi) okuyigga ensolo naye nga

butimba nga bagenderera okukanga tebeekakasa oba ensolo gye bayigga

ensolo efubutuke ng’edda ku luuyi ddala ekyali ku kizigo w’esuubirwa

oluliko obutimba esobole okutoola. okubeera. Kino kibaawo naddala

ng’ensolo eyiggibwa ngenyi ku kizigo.


LLG017 okusagga kk

(omuyizzi) okuyingirira ekizigo LLG021 okwandaaza kk

n’awoggana n’okukangakanga ensolo okuyigga ensolo etamaze kuzigibwa.

esobole okufubutuka mu nfo yaayo


Effumu l [5li/6ma]
ng’edda eri awategeddwa ebitimba.

LLG022 omugogo l [3mu/4mi]


LLG018 omusaggizi l [1mu/2ba]
ensolo eyazaalako. Abayizzi baagala
oyo asagga.
nnyo okuyigga emigogo kubanga giba

LLG019 okwasira kk minene, misava ate era nga

(omuyizzi) okuduumira oba tegibatawaanya olw’obutaba na

okuweerera embwa ng’azizzaamu maanyi gadduka kugenda wala.

amaanyi zisobole okuwunyiriza wamu

n’okuzuulira ddala awali akasolo.

52
LLG023 ensongola l [9n/10] LLG027 omuwuzi l [1mu/2ba]

ensolo etazaalangako. Eba ekyali ya omuyizzi addirira omussi okufumita

maanyi era etawaanya nnyo abayizzi. ku nsolo oba omuyizzi afumita ensolo

omulundi ogwokubiri, oluvannyuma


LLG024 omugoba l [1mu/2ba]
lw’omussi.
oyo eyeetaba mu kuyigga naye nga

talina lutuula oba kitimba kikye ku LLG028 ensikya l [9n/10n]

bubwe. ennyama oba ekitundu ky’ensolo

ekiba emabega w’obulago. Kino kye


LLG025 okutoola kk
kitundu ekigabanwa omuwuzi.
(ensolo) okuyingira mu kitimba oba

olutuula. LLG029 amayingaanyi l [6ma]

ekitundu ky’ennyama, eky’embiriizi


Okufumita kk
omunaana, ekigabanwa omuyizzi

LLG026 okufumita obutanga kk addirira omuwuzi okufumita ensolo

okufumita ensolo nga tennaba kutoola. (owookusatu).

53
WLH OKUBALA

Omuganda mubazi nnyo. Asobola okubala ebintu ebingi ennyo ate nga birimu

obutundu obusirikitu ddala nga: “Obwesedde buna mw’obuse bubiri

mw’akawumbi kamu mw’obukadde buna mw’emitwalo etaano mw’enkumi

bbiri mu kikumi mw’ataano mu ttaano”. Omunoonyereza teyatunuulira buli

muwendo gye gusobola okukoma. Yakozesa emiwendo emiramba gyokka. Egyo

egiri wakati w’emiramba omuntu ayogera olulimi asobola okugenda ng’agattagatta

emiramba n’asobola okwasanguza omuwendo gwonna gw’ayagala.

WLH001 ensuusuuba l [9n/10n] omuwendo oguva mu kugatta ekikumi

omuwendo gwonna oguli okuva ku emirundi kkumi.

emu okutuuka ku mwenda. Mulimu WLH005 omutwalo l [3mu/4mi]

emu, ebbiri, essatu, ennya, ettaano, omuwendo oguva mu kugatta olukumi

omukaaga, omusanvu, omunaana emirundi kkumi.

n’omwenda. WLH006 akasiriivu l [12ka/14bu]

WLH002 ekkumi l [5li/6ma] omuwendo oguva mu kugatta

omuwendo oguddako oluvannyuma omutwalo emirundi kkumi.

lw’omwenda. WLH007 akakadde l [12ka/14bu]

WLH003 ekikumi l [7ki/8bi] omuwendo oguva mu kugatta

omuwendo oguva mu kugatta ekkumi obusiriivu kkumi.

emirundi kkumi.

WLH004 olukumi l [11lu/10n]

54
WLH008 akawumbi l [12ka/14bu] WLH013 akafufugge l [12ka/14bu]

omuwendo oguva mu kugatta omuwendo oguva mu kugatta

obukadde kkumi. obusennyente kkumi.

WLH009 akase l [12ka/14bu] WLH014 akewunguzi l [12ka/14bu]

omuwendo oguva mu kugatta omuwendo oguva mu kugatta

obuwumbi kkumi. obufufugge kkumi.

WLH010 akeesedde l [12ka/14bu] WLH015 akabonesi l [12ka/14bu]

omuwendo oguva mu kugatta obuse omuwendo oguva mu kugatta

kkumi. obwewunguzi kkumi.

WLH011 akatabalikamangu l WLH016 kannantalabikalabika

[12ka/14bu] omuwendo oguva mu l [12ka/14bu] omuwendo oguva mu

kugatta obwesedde kkumi. kugatta obubonesi kkumi.

WLH012 akasennyente WLH017 akeewuunyisa l

l [12ka/14bu] omuwendo oguva mu [12ka/14bu] omuwendo oguva mu

kugatta obutabalikamangu kkumi. kugatta bunnantalabikalabika kkumi.

55
WLH018 akasamaaliriza l WLH025 akatebenkeza l

[12ka/14bu] omuwendo oguva mu [12ka/14bu] omuwendo oguva mu

kugatta obwewuunyisa kkumi. kugatta obukkaliza kkumi.

WLH019 akanyamaaliriza l WLH026 akatajuza l [12ka/14bu]

[12ka/14bu] omuwendo oguva mu omuwendo oguva mu kugatta

kugatta obusamaaliriza kkumi. obutebenkeza kkumi.

WLH020 akagulisi l [12ka/14bu] WLH027 akamatiza l [12ka/14bu]

omuwendo oguva mu kugatta omuwendo oguva mu kugatta

obunyamaaliriza kkumi. obutajuza kkumi.

WLH021 akayunzi l [12ka/14bu] WLH028 akasanyusa l [12ka/14bu]

omuwendo oguva mu kugatta omuwendo oguva mu kugatta

obugulisi kkumi. obumatiza kkumi.

WLH022 akayingiza l [12ka/14bu] WLH029 akajaganyisa l

omuwendo oguva mu kugatta [12ka/14bu] omuwendo oguva mu

obuyunzi kkumi. kugatta obusanyusa kkumi.

WLH023 akatereeza l [12ka/14bu] WLH030 akasagambiza l

omuwendo oguva mu kugatta [12ka/14bu] omuwendo oguva mu

obuyingiza kkumi. kugatta obujaganyisa kkumi.

WLH024 akakkaliza l [12ka/14bu] WLH031 akajjuza l [12ka/14bu]

omuwendo oguva mu kugatta omuwendo oguva mu kugatta

obutereeza kkumi. obusagambiza kkumi.

56
WLH032 akabenga l [12ka/14bu] KLI003 omugabe l [1mu/2ba]

omuwendo oguva mu kugatta obujjuza oyo alondebwa Kabaka n’aweebwa

kkumi. obuvunaanyizibwa bw’okukulembera

WLH033 akabooza l [12ka/14bu] olutabaalo.

omuwendo oguva mu kugatta


KLI004 okugaba kk
obubenga kkumi.
okuwa obuvunaanyizibwa oyo

anaakulembera olutabaalo.
KLI OKUTABAALA
KLI005 entamiivu l [9n/10n]

KLI001 eggye l [5li/6ma] emu ku ngoma z’obwakabaka, Kabaka

ekibinja ky’abalwanyi oba abatabaazi. gy’alaya ng’ayita Katikkiro

n’abakungu bonna okubeerawo


KLI002 okwolesa kk
ng’ayatulira oyo gwe yalonze okuba
okwanjulira oba okulaga Kabaka
omugabe w’olutabaalo.
eggye. Bwe wabeerawo okugaba

olutabaalo olunene, Kabaka asooka KLI006 okulaya kk

kuyita ba masaza ne boolesa eggye okukuba oba okuvuza engoma.

lyabwe olwo n’alyoka agaba Enkeera Kabaka nga yasuze ayawudde

omugabe. anaakulembera olutabaalo, Kabaka

akeera kulaya ngoma ye entamiivu.

57
KLI007 okuwera kk KLI010 ebbombo l [5li]

(omugabe) okukakasa era n’okulayira kika kya muddo, guba n’ebikoola

eri Kabaka nga bw’ajja era bw’ali ebigazigazi era nga bya kiragala

omumalirivu okukola n’okutuukiriza omukwafu. Gukula gulandira wansi.

obuvunaanyizibwa obuba Bakyala b’omugabe abakulu bonna

bumukwasiddwa. nga bamuwerekera ng’ava mu

kisaakaate kye, bagenda


KLI008 ggombolola l [1mu/8bi]
bagwambadde mu bulago bwabwe era
ekyoto ekibeera ku wankaaki
bwe badda, Kaddulubaale, Kabejja ne
w’olubiri ekitazikira okuggyako nga
Nassaza baguwanika mu ddiiro
Kabaka akisizza omukono. Omugabe
okutuusa lw’alidda.
bw’amala okulayira, ajja ku

ggombolola n’ayoolamu evvu KLI011 okweyoleka kk

n’alisaaba mu kyenyi kye. (abatabaazi) okweyanjula n’okuwera

eri omugabe waabwe. Kino kikolebwa


KLI009 okusebeya kk
nga bamazeeko Obuganda era wano
(omukazi) okugenda n’omugabe (bba)
omugabe w’alabira oba yatabaaza
mu lutabaalo. Omugabe bw’amala
eggye ddene oba ttono.
okusaaba evvu mu kyenyi n’adda

ewuwe, olwo n’alyoka alonda bakyala KLI012 okulamaga kk

be abanaasebeya. okutambula, mu kutabaala

kwennyini. Omugabe abeera wakati

ng’ebbali n’ebbali eriyo amasaza

58
agawerako, ko n’emabega we era KLI016 kalabaalaba l [1mu/2ba]

ng’eyo y’eri ne bakyala be. Batambula omumyuka w’omugabe, era mu

mu ngeri eyo okutuusa ng’olutabaalo kulamaga, aliraanira ddala omugabe.

luwedde. Kabaka alonda omwami omuganzi

ennyo gw’awa obwa kalabaalaba.


KLI013 kitenga l [1mu]

amaliba g’engeye. Gano omugabe ge KLI017 okukuza olutabaalo kk

yeesiba mu kiwato. omugabe n’abakungu n’abaami

abalala, okubuuka bakazi baabwe


KLI014 engule l [9n/10n]
abakulu oluvannyuma lw’okunyaga
ekyambalo ky’oku mutwe (si nkufiira)
embuzi oba enkoko, ne batta embuzi,
ekiyinza okubaako amatiribona
omugabe n’alya ekibumba n’awaako
ag’engeri yonna. Kikwanyizibwa nnyo
ne bakazi be.
n’obuzira oba ekitiibwa eky’engeri
KLI018 omulabe l [1mu/2ba]
endala. Oluusi omugabe abeera
eggye oba omu ku balwanyi b’eggye
atikkidde engule.
eriri ku luuyi luli olulala, ab’eno lwe

KLI015 olukwanzi l [11/lu/10n] balwanagana nalwo.

akagwa oba ewuzi eba esibiddwako


KLI019 okuketta kk
embira ennyirivu ennyo. Oluusi
(abalwanyi) okugenda nga baziga
omugabe atikkira obuti obuwunde
n’okwetegereza obulungi ekifa ku
enkwanzi.
mulabe waabwe, entambula ze na buli

59
kimu, ekibayamba okumwanganga KLI023 omuyayi l [1mu/2ba] oyo

obulungi. ayaya.

KLI020 omukessi l [1mu/2b1] oyo KLI024 ekikwekweto l [7ki/8bi]

aketta. ekibinja ky’abasajja abalwanyi

abeereere omutali wa mugugu. Kino


KLI021 okunyaga kk
kibeerawo bulindaala era omugabe
abalwanyi b’oku luuyi olumu
ky’agaba ng’atuuse awali olutalo
okugenda nga batwala ebintu
olw’amaanyi.
by’abalabe baabwe, naddala nga

babafufuggazza. KLI025 omunyago l [3mu]

ebintu ebiba binyagiddwa omuba:


KLI022 okwaya kk
ensolo, abakazi, abaddu n’ebirala.
okunyaga emmere eriibwa mu

lutabaalo. Bwe bamala okugiyaya, nga KLI026 okukuba embwagulo kk

basooka okwawulako okulobola omulundi ogusooka mu

ey’omugabe, ne baddako bintu ebiba binyagiddwa. Omugabe

ey’abakungu, olwo esigalawo w’ekikwekweto y’asooka ne kuddako

y’ebeera ey’abakopi. abaami abalala.

KLI027 omuddu l [1mu/2ba]

omusajja yenna aba anyagiddwa mu

lutabaalo.

60
KLI028 okukuba omuwambiro kk bafuna bingi era n’ab’ebitono bwe

okulobola okw’omulundi ogwokubiri batyo.

mu bintu ebinyagiddwa. Kino


KLI031 okuwoza olutabaalo kk
kikolebwa ng’omugabe w’olutabaalo
okutegeeza Kabaka olutabaalo nga
amaze okulaba nti omunyago
bwe lwagenda. Omugabe alonda
guweredde ddala.
omwami agenda eri Kabaka

KLI029 omwandu l [3mu] okumuwoleza olutabaalo era

omugatte gw’ebintu byonna awamu amutegeeza abaami abattibwa

ebiba binyagiddwa. n’abaafa obufi, wamu n’omuwendo

gw’ebintu ebyanyagibwa.
KLI030 okugereka kk

(omugabe) okugabanya omunyago KLI032 okuwula kk

buli ssaza n’aliwaako ebyalyo okutabaala eggwanga nga Kabaka

okusinziira ku muwendo gwe tamanyi. Kino kyakolebwanga abaami

baanyaga. Abaanyaga ebingi era abazira abaatabaalanga Abanyoro ne

babanyagako ebyabwe.

KLJ OLUMBE

Buli muntu yenna alina okufa era n’akolebwako emikolo egisembayo.Emikolo

egikolebwa ku Kabaka tegifaanana na gya mwami oba egy’omukopi, so

n’egy’omukopi tegifaanana na gya mwami, newankubadde ng’egisinga gifaanana.

Kizibu nnyo, oluusi tekisoboka na kusoboka okwawulira ddala emikolo gino ne

61
gyetongola buli gya muntu ku bwagyo. Omunoonyereza yagitwalira wamu, wabula

nga mu nnyinyonnyola akirambika bulungi, nti ekintu gundi kikwata ku muntu

bw’ati.

Emikolo egikolebwa ng’omuntu yaakafa, ng’aziikibwa n’awo wonna okutuuka

olumbe we luggweera nagyo mizibu okwawula kubanga waliwo oluwuzi olugumu

olugiyunga awamu. Omunoonyereza naye teyagyawula wabula yagissa mu kirimba

kimu okuva omuntu lw’afa okutuuka ng’olumbe lumaze okwaba.

KLJ001 okugolola kk KLJ004 olubugo l [11lu/10n]

okutereeza oba okulambulula ebitundu ekyambalo ky’Abaganda ekikulu.

by’omulambo, naddala emikono Kisinga kukolebwa mu kikuta kya

n’amagulu ne birema okweweta. mutuba. Kino kye baaliira wansi ne

Omuntu nga yaakafa, ekisooka bawummuzaako omulambo nga

okukolwa kwe kumugolola nga bagenda okugunaaza, era mwe

tannakakanyala. baguzinga nga bagenda okuguziika.

KLJ002 okunaaza kk KLJ005 olufuvu l [11lu/10n]

okulongoosa omulambo n’ebisuumwa ekimu ku biwuzi ebifundafunda,

nga gumaze okugololwa. ebikomolwa mu lubugo. Bino bye

KLJ003 ekisuumwa l [7ki/8bi] byeyambisibwa okusiba omulambo

ekinyirikisi ekikolokotwa mu mugogo. nga gumaze okunaazibwa.

Kino kye kikozesebwa mu kunaaza

omulambo.

62
KLJ006 amasanja l [6ma] obulungi. Zisooka kwozebwa na

endagala embisi ezisasirwa mu nju mwenge ne zaanikibwa ne zikala.

oluvannyuma lw’okusiba omulambo


KLJ009 omumbowa l [1mu/2ba]
ne gussibwa mu ddiiro.
omusajja wa Kabaka gw’atuma

KLJ 007okunyiga kk okutuukiriza ekigendererwa kye oba

okulongooseza ddala omulambo gwa okussa mu nkola ky’aba amugambye,

Kabaka oba omwami nga yaakafa, nga naddala okutta oyo Kabaka

beeyambisa ebisuumwa. Bagunyigira gw’asazeewo attibwe.

ku mbugo era ng’abaana n’abako


KLJ010 nnamwandu l [1mu/2ba]
tebaliiwo.
omukazi afiiriddwako bba.

KLJ008 okwoteza kk Abambowa bawa bannamwandu ku

okunyookeza embugo ezisooka mwenge gwe banyigisa ebyenda

okunyigirwamu omulambo bagunyweko. Babagamba nti

n’omugavu zisobole okuwunya “bbammwe mumulye nga bwe

mwalyanga ebintu bye”

KLJ011 okulira kk KLJ012 entaana l [9n/10n]

okukaaba ennyo. Bannamwandu bwe ekinnya omuziikibwa omuntu. Kiba

bamala okunywa omwenge, nga badda kya nsonda nnya nga kirina obuwanvu

ku mpagi batandika okulira. bwa ffuuti nga mukaaga.

63
KLJ013 omusika l [1mu/2ba] ezisigalawo n’azifuuyira omu ku

omuntu alondebwa okudda mu bigere bannamwandu era n’ayimuka

by’oyo afudde. Ebiseera ebisinga n’amutwalira ddala.

alondebwa omugenzi yennyini


KLJ016 okuziraga kk
ng’akyali mulamu, mu baana be oba
okulongoosa omulambo omulundi
abooluganda lwe abalala. Bw’aba
ogusembayo. Abooluganda n’abakazi
tamwerondedde alondebwa
be bakikola. Basooka kweyambisa
oluvannyuma ng’amaze okufa.
bisuumwa ebikooneddwa mu kitooke

KLJ014 empambo l [9n/10n] ky’embidde ne nnakitembe, ate

ensigo z’ensujju. Zikozesebwa mu oluvannyuma ne beeyambisa

mukolo oguyitibwa okulumira n’amafuta ag’akawoowo.

empambo ogukolebwa omusika nga


KLJ017 okubikka akabugo kk
yaakalondebwa.
(omusika) okuyimirira emitwetwe
KLJ015 okulumira empambo kk
w’omulambo n’ayanjuluza olubugo
(omusika) okuggya empambo mu
n’alubikka omulambo ne lutuukira
ngalo z’omufu n’omumwa, n’azigaaya
ddala emirannamiro ku bigere.
ne zigonda n’azifuuyira omufu,

KLJ018 okuzinga kk KLJ019 akasanvu l [12ka/14bu]

okusiba obulungi omulambo mu akatabi k’omuti akatonotono. Bwe

mbugo. Okubikka akabugo oluggwa, bamala okuzinga, bafuna omuntu ne

olwo okuzinga nga kutandika. bamukwasa akasanvu k’omutuba

64
n’akulembera ab’omulambo nga lw’akisala. 2. omuzzukulu oyo akola

bagenda emagombe. omukolo guno.

KLJ020 ettale l [23e] KLJ023 amalaalo l [6ma]

wabweru w’entaana. Bwe batuusa ekifo ekyo omulambo we gumaze

omulambo, abantu nga bana bakkirira okuziikibwa.

mu ntaana ne babaweereza omulambo.


KLJ024 ekimyu l [7ki/8bi]
Bano abasigala waggulu boogerwako
ekitundutundu ky’olubugo ekyesibwa
ng’abali ku ttale.
mu kiwato nga akabonero

KLJ021 akamweso l [7ki/8bi] k’okukungubaga. Ebimyu bye beesiba

engeri y’akabaati akatono, mu kusima entaana, okuziika bwe

akabyabyatavu era nga kalina obwogi kuggwa babireka ku malaalo.

bungi. Kakozesebwa ddala nga


KLJ025 okulaalika olumbe kk
eggirita mu kumwa oba okusala
okulangirira oba okutegeeza abantu
ebintu. Omulambo bwe gumala
olunaku olumbe lwe lunaayaba. Kino
okussibwa mu ntaana, omuzzukulu
kikolebwa amangu ddala ng’abantu
w’omufu akkirirayo nga bamubisse
baakava emagombe.
olubugo n’asala ekirenge ky’olubugo

ebitundu bibiri. KLJ026 ekibanyi l [7ki/8bi]

engeri y’olutandaalo olukolebwa mu


KLJ022 omulindi l [3mu/4mi]
kiyungu, waggulu w’ekyoto, nga
1.ekirenge ky’olubugo ekisigala nga
lusinga kussibwako nku zisobole
kireebeeta okutuusa omuzzukulu

65
okukala amangu, olw’ebbugumu KLJ029 omwandu l [3mu]

ly’ekyoto. Nga bamaze okulaalika omugatte gw’ebintu byonna omugenzi

olumbe, wafunibwayo omuntu omu by’aleka ng’afudde. Oluusi n’abakazi

n’atema amabidde n’agawanika ku babeeramu. Biyitibwa mwandu

kibanyi. kubanga abasajja b’edda ebintu

byabwe baabiggyanga mu kunyaga


KLJ027 essuumwa l [5li]
mu ntabaalo. Ebintu ebimyagemu
omwenge ogunywebwa abakungubazi
lutabaalo biyitibwa mwandu.
nga waakayitawo ebbanga ttonotono

okuva ku kuziika. Gwe gusogolwa mu okumwa enviiri kk

mabidde agaawanikibwa ku kibanyi.


KLJ030 lubuga l [1mu/2ba]
Guyitibwa ssuumwa kubanga embidde
mwannyina w’omusika gw’asika
okusuulibwa ebisuumwa
naye. Ono naye bamumwera wamu
ebikozesebwa mu kuziraga omulambo
enviiri n’omusika, omwenge
y’etemwa n’egattibwako n’endala ne
(gw’olumbe) nga gumaze okuggya.
ziryoka ziwanikibwa.

KLJ031 mulekwa l [1mu/2ba]


KLJ028 enziisa l [9n/10n]
omwana aba afiiriddwa muzadde we.
ente omwami w’ekyalo gy’asaba nga
Bamulekwa ne bannamwandu (bokka)
waliwo omuntu eyava ebweru n’afiira
be balya emmere efumbibwa ekiro mu
ku kyalo kye. Okukkiriza okumuziika
ngalabi ng’etabuddwamu embidde era
ku kyalo kye, asaba enziisa era bamala
bagirriira mu luggya. Balyako
kugimuwa okumuziika.

66
katonotono buli omu, esigalawo ne KLJ035 oluyina l [11lu/10n]

bagirinnyirira n’ebigere. olulagala olusensuddwa. Bwe bamala

okulya enkoko n’enkejje, abasajja


KLJ032 omujjwa l [1mu/2ba]
beesiba empina ne bayita mu ddiiro
omwana wa mwannyina w’omufu.
nga bazina era nga bwe bayimba.
Okulya bwe kuggwa, omujjwa

awangula empagi ya sseddugi mu KLJ036 ekifugi l [7ki/8bi]

ddiiro. engeri y’ekituuti oba olubalaza,

omusika kw’atuuzibwa ng’agenda


KLJ033 sseddugi l [9n/10zi]
okusumikwa n’okulagibwa eri abantu
empagi ennene ebeera mu ddiiro
bonna.
wakati ng’ekwatira ddala mu kasolya.
KLJ037 okusumika kk

KLJ034 eggwagi l [5li/6ma] (omukulu w’olumbe) okwambika

empagi ya sseddugi, omujjwa omusika olubugo lw’amaze okusibako

gy’awangula n’essibwa mu kyoto, ekituttwa. Wano era asobola

abaana b’omufu ne bannamwandu ne okumwambikirawo amayembe ga

bagyota. Ku ggwagi lino era bookyako kitaawe, era n’ayatula eri abantu nti

enkoko emu n’eriibwa abaana ono ye musika w’omugenzi gundi.

abalenzi n’enkejje emu abakazi ne KLJ038 okusumikira kk

balumako. (abantu abalala) okusumika omusika

ne lubuga ensimbi mu ngalo nga

batudde ku lubugo oluvannyuma

lw’omukulu w’olumbe.

67
KLJ039 olufuwa l [11lu] KLJ041 amasanja l [6ma]

ennyama y’olumbe efumbwa ku ebisanja n’ebisaaniikosaaniiko ebirala

lunaku olwokusatu ng’olumbe lumaze byonna ebyakozesebwa mu lumbe,

okwaba, n’eriibwa abaana b’omugenzi omujjwa by’ayoola ng’abitwala mu

bonna ne bannamwandu. Basooka lusuku okwetooloola ku kiggya,

kulyamu nnyi. ng’olumbe luweddemu. Asasulwa

olw’okukola omukolo guno.

KLJ040 ennyi l [9n]

ekibumba.

68
OLUKALALA LW’EKIWALIFU

akabaya LLB054

akabenga WLF032

akabonesi WLF015

akabooza WLF0

akafufugge WLF013

akagoota LME008

akagulisi WLF020

akajaganyisa WLF029

akajjuza WLF031

akakadde WLF007

akakkaliza WLF024

akalabirizabazaana WBD011

akalasamayanzi WBD006

akalira KLA034

akamatiza WLF027

akamba LLB034

akamweso KLJ021

akanyamaaliriza WLF019

akasagambiza WLF030

69
akasamaaliriza WLF018

akasanvu KLJ019

akasanyusa WLF028

akase WLF009

akasendabazaana WBD012

akasennyente WLF012

akasiriivu WLF006

akatabalikamangu WLF011

akatajuza WLF026

akatebenkeza WLF025

akatereeza WLF023

akawaawo LLC013

akawozamasiga WBD014

akawumbi WLF008

akayingiza WLF022

akayunzi WLF021

akeesedde WLF010

akeewuunyisa WLF017

akewunguzi WLF014

amakola g’ebyeggulo WBD010

amakola g’ebyemisana WBD008

amalaalo KLJ023

70
amaliiri WBD003

amalya g’ebyeggulo WBD013

amalya g’ebyemisana WBD009

amasanja KLJ006

amasanja KLJ041

amasengere LLF010

amatale LLF002

amattansejjere WBD016

amatulutulu WBD001

amatutuma WBD017

amawata LLB002

amayingaanyi LLG029

basenyi LME009

ddumbi WBD024

ebbaasi LLB015

ebbombo KLA015

ebbombo KLI010

ebbumba LLC002

ebinyuzi LLF005

ebisibosibo LLC004

ebisibosibo LLF001

ebulumba LLB011

71
eddenge LLG008

eddindi LLB049

eddindi LME010

eggalwe LLB033

eggami LLB042

eggwagi KLJ034

eggye KLI001

ekibanyi KLJ026

ekibululu KLA013

ekifugi KLJ036

ekikaayi LLC010

ekikolo LLB017

ekikumi WLF003

ekikwekweto KLI024

ekimyu KLJ024

ekinnyi KLA025

ekinywambogo WBD019

ekiragala LME011

ekirombe LLC001

ekisaggo LLB052

ekisenso KLA020

ekisuumwa KLJ003

72
ekitanyi KLA027

ekitimba LLG010

ekiwembo LLB044

ekiwenda LLB045

ekiwottonono KLA026

ekiyiwo LLB043

ekizigo LLG003

ekkumi WLF002

ekyanjo LLC007

ekyasa WBD026

ekyokero LLC018

embaalebaale LLC005

embiga LLF006

embuzi ey’omugerengejjo KLA023

emmandwa KLA005

emmindi esooka WBD004

emmindi eyookubiri WBD005

empamba LLB036

empambo KLJ014

empano LLB018

empogola KLA018

empongoloni KLA022

73
enda LLB004

endege KLA017

engule KLI014

enjeyo LLB022

enjola LLB028

enkasi LLB055

enkeero LLF004

enkoko embereberye WBD018

enkoko eyookubiri WBD020

enkondwe LLC009

enku LLB023

enkuyi LLB051

ennoga KLA037

ennyi KLJ040

ensanda LLB009

ensibo LLC006

ensikya LLG028

ensinda KLA035

ensongola LLG023

ensuusuuba WLF001

entaana KLJ012

entamiivu KLI005

74
entujjo KLA030

entujjo KLA031

enziisa KLJ028

essa LLB040

essaaniiko KLA021

essasa LLF011

essuumwa KLJ027

ettale KLJ020

ettale LLB058

ettaleokukuza ekiragala LME012

ettumbi WBD015

ettuntu WBD007

ezzooba WBD022

engombe ey’ekikaayi LLG007

engombe LLG006

gawuga KLA029

ggerenge LLB046

ggombolola KLI008

kalabaalaba KLI016

kannantalabikalabika WLF016

kayeyokatono LLB025

kayozo LLB027

75
kikulwa LLB047

kikumbi LLB024

kitenga KLI013

kyamba LME004

kyungo LME003

lubuga KLA010

lubuga KLJ030

mulekwa KLJ031

mupala LLB048

muwanga KLA006

nkuzi LLB039

nnaalongo KLA003

nnaalongo omukulu KLA01

nnakitembe KLA014

nnamwandu KLJ010

nnankungo LLB003

obulezi KLA036

obuwufu LLG012

obuyanja LME002

okubika abalongo KLA008

okubikka akabugo KLJ017

okufugika KLA028

76
okufukuta LLF008

okufumita obutanga LLG026

okugaba KLI004

okugalama KLA024

okugereka KLI030

okuggala KLA012

okugolola KLJ001

okuketta KLI019

okukiga KLA032

okukondera LLB031

okukonja LLB037

okukuba embwagulo KLI026

okukuba omuwambiro KLI028

okukuba omwali LLC014

okukubirira LLG016

okukuza olutabaalo KLI017

okukyamira LLB013

okulaalika olumbe KLJ025

okulagaana LME001

okulagula KLA007

okulamaga KLI012

okulaya KLI006

77
okulima LLB019

okulira KLJ011

okuluma LLB026

okulumira empambo KLJ015

okumenya olukanda KLA033

okunaaza KLJ002

okunyaga KLI021

okunyiga KLJ007

okusagga LLG017

okusala ekizigo LLG004

okusamba ebbumba LLC008

okusaza LLG020

okusebeya KLI009

okusibiza LME013

okusiibulukusa LME014

okusumika KLJ037

okusumikira KLJ038

okutala amajoba KLA016

okutoola LLG025

okutta ekizigo LLG013

okutuzza KLA019

okuwera KLI007

78
okuwoza olutabaalo KLI031

okuwula KLI032

okuziga LLG001

okuzinga KLJ018

okuziraga KLJ016

okwandaaza LLG021

okwasira LLG019

okwaya KLI022

okwengerera LLF012

okweyoleka KLI011

okwola LLB041

okwola LLC017

okwolesa KLI002

okwoteza KLJ008

olubanga LLB010

olubugo KLJ004

olubungubungu WBD002

olufuvu KLJ005

olufuwa KLJ039

olugwanyu LLG015

olukumi WLF004

olukwanzi KLI015

79
olulago LME005

olulimi LLB008

olunaku WBD021

olunyago LLG014

olusinga LLB032

olusinga LME007

olusove LLB050

olutala LLC003

olutiba LLB056

olutuula LLG009

oluwenda LLG005

oluwero LLB020

oluyina KLJ035

oluyina LLB059

olwasa WBD027

olwola LLC016

omuddu KLI027

omufulubwa LLB038

omugabe KLI003

omugo LLC015

omugoba LLB012

omugoba LLG024

80
omugogo LLG022

omugongo LLB005

omuguwa LLG011

omujjwa KLJ032

omukessi KLI020

omukulungwa LLC011

omulabe KLI018

omulindi KLJ022

omulongo KLA001

omulubaale KLA004

omulugwa LLF009

omulumyo LLB029

omumbowa KLJ009

omunyago KLI025

omunyolo LLB035

omusa LLB016

omusaggizi LLG018

omusasi LLB053

omusika KLJ013

omusinga LLF014

omutima LLB006

omutuusa LLB021

81
omutwalo WLF005

omutwe LLB007

omuvubo LLF003

omuvule LLB001

omuwunda LLB030

omuwuzi LLG027

omuya LME006

omuyayi KLI023

omuyindu LLF013

omuyovu LLB014

omuzizi LLG002

omuzzanvuma LLF007

omwaka WBD023

omwali LLC012

omwandu KLI029

omwandu KLJ029

omwoko LLB057

ssaalongo KLA002

ssaalongo omukulu KLA009

ssseddugi KLJ033

ttoggo WBD025

82
4.0 OKUWUMBAWUMBA

Omunoonyereza yateebeereza nti enkuluze ey’ekiruubirirwa eky’enjawulo ate

ng’etegekeddwa okusinziira ku bitegeero esoboka mu lulimi Oluganda nga bwe kiri

mu nnimi endala. Era yateebereza nti amakulu g’ekigambo gasinga kutuukibwako

mangu mu nkuluze ey’engeri eno okusinga mu nkuluze esengekeddwa ekiwalifu.

Omunoonyereza yeeyambisa ebyobuwangwa by’Abaganda okugezesa bye

yateebereza. Okusinziira ku byazuulibwa, kyazuuka ng’enkuluze ey’engeri eno

esoboka bulungi nnyo mu lulimi Oluganda. Amakulu g’ekigambo nago kyazuuka

nga gatuukibwako mangu mu nkuluze eyeesigamiziddwa ku bitegeero okusinga bwe

kibeera mu nkuluze esengekeddwa ekiwalifu. Kino kiri bwe kityo kubanga kiba ne

binnaakyo bwe biddiriηηana mu lweyongerero olumu. Kino kiyamba omweyambisa

okugeraageranya ebigambo ebyo n’afuna mangu amakulu gaabyo.

4.1 OKUWA AMAGEZI

Ebyazuulibwa biraga nga enkuluze eyeesigamiziddwa ku bitegeero esoboka mu

lulimi Oluganda. Noolwekyo omunoonyereza awa amagezi gano:

(i) Abawandiisi b’enkuluze n’abatendekebwa mu mulimu guno

bandikomezza okukitwala nti enkuluze y’eyo eba esengekeddwa

83
ekiwalifu yokka, ne batandika okwenyigira mu kuwandiika enkuluze

ezeesigamiziddwa ku bitegeero.

(ii) Abasomi nabo bandyeyunidde nnyo enkuluze ezeesigamiziddwa ku

bitegeero, kubanga zanguyiza omusomi okutuuka ku makulu g’ekigambo

bw’aba ng’akigeraagerannyizza n’ebigambo ebirala bwe biri mu

lweyongerero olumu.

84
4.2 EKIZIBU EKIGGYA

Omulimu ogwakolebwa mu kunoonyereza kuno gulabika nga gwasima busimi

musingi oba mpangi ya kunoonyereza okukyetaagisa ennyo mu kisaawe kino.

Okunoonyereza kuno kwakolebwa ku byabuwangwa byokka. Kyetaagisa

okutunuulira ku bisaawe ebirala. Oluvannyuma lw’ekyo, okunoonyereza kuno

kwetaaga okukolebwa ku lulimi Oluganda lwonna awamu. Noolwekyo, olulimi

Oluganda lwetaaga Enkuluze y’olulimi Oluganda ey’ekiruubirirwa eky’awamu nga

yeesigamiziddwa ku bitegeero.

85
EBITABO EBYAKOZESEBWA

1. Gorman, T.P (1972) A Glossary in English, Kiswahili, Kikuyu and Dholuo.

Cassell & Company Ltd, Nairobi.

2. Kaggwa, A (1999) Empisa z’Abaganda, Crane Publishers Limited,

Kampala.

3. Kitching, A.L ne Blackledge (1952) A Luganda-English and English-

Luganda Dictionary, Society for Promoting Christian Knowledge, London.

4. Landau, S.I (1989) Dictionaries, The Art and Craft of Lexicography,

Cambridge University Press, NewYork.

5. Le Veux, H (1917) Premier essai de Premier essai de Vocabulaire

Luganda-Francais, Maison-Care, Alger.

6. McArthur, T (1982) Longman Lexicon of Contemporary English, Longman

Group Ltd, England.

7. Mitchell, G.D (1979) A New Dictionary of Sociology, Routledge & Kegan

Paul Ltd, London.

8. Mpuuga, W (1987) Amagezi g’Ab’edda, Marianum Press, Kisubi.

9. Murphy, J.D (1972) Luganda-English Dictionary, The Catholic University

of America Press, Inc, Washington, D.C.

10. Nsobya, A.T The New Kiganda Mathematical System for Astronomical

Calculations, Nsobya, Kampala.

86
11. Roget (1966) Roget’s Thesaurus, Longman’s Green & Co Ltd, England.

12. Roscoe, J (1965) The Baganda, Frank Cass & Co. Ltd.

13. Sekamwa, J.C (1990) Enkuluze y’Eddiini y’Abaganda ey’Ennono, Wood

Printers and Stationers, Kampala.

14. Snoxall, R.A (1967) Luganda-English Dictionary, Clarendon Press, Oxford.

15. Walusimbi, L (1999) Okufumbiriganwa mu Buwangwa bw’Abaganda,

Walusimbi, Kampala.

87
88

You might also like