Kalagi singo 12/11/1973
Ekitabo kyefe ekyekika kyabe nyonyi enyange. Akabiro kunguvu obutaka bwafe buli banga esese. Tusibuka musiga
lyanvubwa omwana we'nju ya kiwukyelu mbazira olusuku lwa mutuba nakende etende bulama busiro mwanyina
nalwoga ensozi sese.
Nvubwa yazala biyemba omwana omu.
Biyemba abaana basatu. Owolubelyebelye ye kibongo ebanga sese, owokubiri musoke ebutumbira, owokusatu kisawo
mukitoke.
Kibongo ebanga yazala selemba jajafe selemba bweyava eyo ebanga naja esenga kabaka kamanya namuwa ebudu
omutala bale. Naye olunyilili lwafe kwetuyingila lwa kasanvu e bugonzi.
Awo olwabela e bale nazala omwana omu yekaketo ate kaketo ono nazala lujigija, lujigija nazala kaserere ate kaserere
nazala buzigi ate buzigi nazala kasekende ne kalenzi ate kalenzi nazala kamanje ate kamanje nazala kagolo ne
nkambwe bamanyisa ne mukasa eyalya obwami obwa muwemba. Obwali obumyuka obwa mukwenda mu singo.
Awo olwatuka bwebali ngabatude ebale ela nga'va wano ebugonzi ne bulondo ne'bitundu ebilala ebililanyewo.
Olwo abantu abeda abe kikakyafe ngatwewozewo. Awono sikulwiseyo.
Owe saza pokino namujulilwa natuma ababaka eli buzigi nga amutegeza ngabwa'gobedwa avemubyalo bye byona
awamu nabantube bona. Awo buzigi nayambuka kukibuga okudukila basajja be kakano bona nebadukira ebale kukyalo
buzigi kyeyakubako embugaye.
Bwelutwo olutalo nelutandika abasajja be buzigi ne balwananyo nabantu abo abali abo'luda lwa pokino nga'bawagizi
na'balwanyisa bona na'bagoba ne'bintu byona bye balinabyo na'bibasuza. Mubyo bye bali banyaze mwemwali
embuzi, ente, abakazi ne'bintu ebilala binji
Bwebatyo bagenda abantu abalala bagenda ne babulila pokino nti lababino buzigi bya'tukoze awo pokino obusungu
nebumukwata nagenda kukibuga nategeza kabaka nga bwawawabide buzigi awamu na'bomubyalobye bona nti yata
abantu bange banji besiyinza kumanya muwendo kusawa eno.
Awo kabaka natumila buzigi nebawoza omusango buzigi ne gumusinga kabaka kamanya nakwata buzigi namuwa
pokino namujulilwa okumusiba mukomela. Awo abantu be abali bajude mubyalo bino:- bale, nkuke, ebulonge ne
bugonzi bwebalaba ngo'mukulu wabwe bamusibye nebatya nyo nebaduka ne basasana buli wantu eyanyonyola bino
ye Ibulaimu mwaziza owegombolola sabagabo egomba musaza gomba sabagabo gombololaya mumyuka mumwaka
1907 seputemba 22. Okuva olwo abantu abaduka nekwawukanako abasajja mukaga (6) ne mukaziwabwe nebadukila
musingo amanya gabwe gegano:-
Kitwe – teyazala
Lukulwe – abomukiganda
Butuyu
Natuma
Nabusaza
Kasekende – bbale, lukoma ekikonge
Ne mukaziwabwe
Demera
Ne baja basenga ekayanga mukitabuza awawo mukulu wabwe kitwe nafilawo ne wasigala abatano (5) nebava
ekayanga nebaja ekibonwa musingo nebasangamu omutaka ayitibwa bwankoko. Omu paku yali nga yedila ngabi
akabilo mazi ga kisasi nafukila dala owomukwano gyebali no'luvanyuma yabatwala okubanjula eri omumbejja
owe'kidukulu na'babuza gyebagala ne basima ekibonwa omutala ogwo ne gubelawo okuviladala kumulembe gwa
kabaka kamanya negufuka obutaka bwafe nokutusa kati bajajafe lwebafira omwo obulwade obwa kawali.
Amanya gabwe gegano abafa kawali:-
Lukulwe
Butuyu
Natuma
Nabusaza
Kasekende – bbale – lukoma abe kikonge 29/8/93
Ate ono lukulwe abapaku nebamutuma erinya ti olikisebezi kwekwava elinya nti muli basebezi.
Ono kisebezi nazala abana bano:-
Kayombela – yazawa nge tazadde mwana
Mbide
Kikwogeza muwala
Luleka
Kidza – kitwe
Kikambi kisambira
Kasunku
Namuyanja – muwala
Mukukumbi teyazala mwana
Kikwalo – yazala edidiyane kilonde