Jump to content

Kololiini

Bisangiddwa ku Wikipedia
kololiini

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Akaziba ka kololiini era oyinza okukayita Atomu ya Kololiini (Chlorine acid) !

Kiroliini (Chlorine):


• akabonero : Cl

• namba y'akaziba : 17

• kiva mu kya lugereeki khlôros (kiragala)


Kololiini ke kaziba(atomu) akalina obukontanyo 17 ate ng’etera okuba ne nampawengwa 18 oba 20 mu buziizi bwako(in its nucleus) n’obusannyalazo 17 obuweweenyuka okwetoloola obuziizi bwako.

Obuziba bwa kololiini okufaanana obulala obuwewufu okusingako nga obwa okisigyeni, butondekebwa munda mwa njuba ne bulyoka bumansuka okuyingira mu bwengula ng’enjuba efuuse semufu (supanova).

Ku nsi, kololiini akola molekyo ez'obuziba bwa kololiini bubiri. Kololiini ggaasi ya kiragala emperuufu (pale green gas). Obuziba bwa kololiinio(Atomu za kololiini) bulina obusannyalazo 2 mu kire ekisambayo ku buziizi(on the nucleus), obusannyalazo 8 mu kire ekyokubiri, obusannyalazo 7 mu kire ekisembayo ku ngulu. Kino kitegeeza nti atomu za kololiini si nzigumivu era zetaagayo okugattako akasannyalazo kamu kokka ku kire kino ekisembayo ku ngulu ekirina obusannyalazo musanvu. Kino kiba kifuula atomu ya kololiini okuba enzigumivu (stable).

Olw’okubaawo akasannyalazo kano akamu akabulako, obuziba(atomu) bwa kololiini, bwanguwa okwegatta n'obuziba obw’ekika ekirala kyonna obuba n’akasannyalazo kamu akayiseemu.

Sodiyaamu, ke kaziba( atomu) ek’ekika kino akasinga okubaawo era mu bwengula ne ku nsi obuziba bwa sodiyaamu ne kololiini bwegatta nga bweyambisa amazzi okukola molekyo y’omunnyo.

Kololiini era yegattika mangu n’amazzi okukola molekyo ya asidi okuva mu kaziba ka ayidologyeni, okisigyeni, ne kololiini era tukakozesa okutta bakitiriya mu mazzi, okulaba nga si ga bulabe kuwugiramu na kunywa.

Amazzi amakolonaate (cholinated water) gatta bbakitiriya kubanga gakutukamu kololiini ne okisegyeni. Kololiini ne okisigyeni byetaaga obusannyalazo obulala era bwegatta mu bwangu ne atomu ez’ebika ebirala.

Bwe bitomera bakitiriyamu, zegatta n’ezimu ku atomu ez’akabubi ka lipido (lipid membrane) ak’akataffaali ka bakitiriyamu. Olwo "akabubi ka lipido" (lipid membrane) ne katonnya. Kaba tekakyasobola kutereka katopulaazi (cytoplasm) munda mwa kataffaali nate era akataffaali kafiirawo.